TOP
  • Home
  • Rally
  • Abayisirayiri bayingiddewo bawaga

Abayisirayiri bayingiddewo bawaga

By Ismail Mulangwa

Added 1st October 2019

Abavuzi ba ddigi okuva e Yisirayiri baayingiddewo ne bawera okukeesa Bannayuganda ddigi

Ddigiweb 703x422

Itay Wienberg (ku kkono), Shay Ashkenazi ne banne nga baakatuka ku kisaawe e Ntebe

TTIIMU y'abavuzi ba ddigi 16 okuva mu Yisirayiri, eweze okulaga Bannayuganda omuliro mu mpaka za ‘Armed Forces Appreciation Motocross Championship' ezigenda okubeera e Busiika ku Ssande, nga October 6.

Bano, abaayingiddewo ku Mmande, baakuttunka ne bakafulu okuva mu Uganda n’amawanga amalala okuli, Bubirigi, Girimaani, Zambia, South Afrika, Kenya, Amerika n’endala, mu mpaka zino, ezitegekeddwa okusiima bannamagye olw’obukuumi bwe bawa Bannayuganda.

Shay Spector, Ariel Dadia, Gleb Furmanov, Itay Wienberg, Shay Ashkenazi ne Ofshetein Shon, bavugira mu mitendera egy’enjawulo okuli; ogwokusatu (MX125), ogwokuna MX85, ogwokubiri (MX2), ogw’abakafulu (MX1) n’ogwokutaano (MX65).

Empaka zino zaakulagibwa layivu ku Urban TV, eri wansi wa Vision Group efulumya ne Bukedde.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...