TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Tanzania ne Kenya zaagala fayinolo za CECAFA

Tanzania ne Kenya zaagala fayinolo za CECAFA

By Stephen Mayamba

Added 1st October 2019

Ttiimu ya Kenya ne Tanzania zirwanira kwesogga fayinolo y'empaka z'abali wansi w'emyaka 20

Tanzaniaweb 703x422

Abazanny ba Tanzania nga bajaganya oluvannyuma lw'okuwandulamu Uganda

Semi za CECAFA U20

Sudan - Tanzania, 9.00 e Gulu

Eritrea – Kenya, 10.00 e Njeru

Kenya ne Tanzania zitunuulidwa nnyo okusitukira mu mpaka CECAFA U20 Challenge Cup. Zombi zirwanira kwesogga fayinolo y’empaka zino ezannyibwa ku Lwokusatu, nga Kenya ettunka ne Eritrea, sso nga Tanzania eri ne Sudan.

Eritrea y’emu ku ttiimu ezisinze okwolesa omutindo omulungi, ate  Tanzania, eyaggyeemu abategesi (|Uganda) ku ‘quarter’, yalumye n’ogwengulu okwetakkuluza ku South Sudan, gye yakubye ggoolo 1-0, eyabadde eyakyetaaba ng’ebula eddakiika ttaano omupiira okuggwa

Okutuuka wano Kenya yakubye Burundi 2-1 ate yo Eritrea yatimpudde Zanzibar  5-0.

Zuberi Katwila, atendeka Tanzania, yagambye nti kebaggyeemu Uganda, tebakyalina ttiimu gye batya.

Fayinolo y’empaka zino ez’etabiddwaamu abavubuka abali wansi w’emyaka 20 okuva mu mawanga 11,ya ku Lwamukaaga mu Pece War Memorial Stadium e Gulu.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...