TOP
  • Home
  • Rally
  • Abayisirayiri beeweredde Bannayuganda

Abayisirayiri beeweredde Bannayuganda

By Ismail Mulangwa

Added 1st October 2019

Nga bakatonnya ku kisaawe e Ntebe, Itay Wienberg ne Shay Ashkenazi bayimbye oluyimba lw’eggwanga lyabwe ne beebaza Katonda okutuuka obulungi mu Afrika.

Isreal 703x422

Shay Ashkenazi (ku ddyo) ne Itay Wienberg (ku kkono) abavugira ku mutendera ogw'okutaano MX65

ABAVUZI ba ddigi; Itay Wienberg ne Shay Ashkenazi okuva e Israel baweza okukukumba ebirabo mu mpaka za ‘Armed Forces Apprecoation Motorcross Championship’ ezigenda okubeera e Busiika ku Ssande.

Bano bakuttunka n’abavuzi okuli; Alon Orland, Gift Ssebuguzi, Kreidah Nsubuga, Miguel Katende ne William Blick Jr ttiimu ya Uganda kw’esibidde olukoba okulaba ng’emegga abagwira.

 

 sebuguzi ku ddyo ne lon ku kkono Ssebuguzi (ku ddyo) ne Alon (ku kkono).

 

Nga bakatonnya ku kisaawe e Ntebe, bayimbye oluyimba lw’eggwanga lyabwe ne beebaza Katonda okutuuka obulungi mu Afrika. Bavugira mu mutendera ogwokutaano (MX65CC) era be bakyampioni b’omutendera ogwo mu nsi yaabwe.

Empaka zino z’akwetabamu abavuzi okuva mu mawanga amalala okuli; Amerika, Bubirigi, Bufalansa, Zambia, Kenya, South Afrika ne Zimbabwe.

Empaka zino ezitunuuliddwa okukozesebwa okusiima bannamaggye, zaakulagibwa layivu ku Urban TV eri wansi wa Vision Group efulumya ne Bukedde nga okuyungira abawagizi bakusasula 15000/- ate abato 5000/-.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...