TOP

Obujulizi obwatade Magogo mu buzibu buubuno

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd October 2019

Emyaka gibadde gyakawera ebiri okuva omukiise wa Makindye West mu Palamenti, Allan Ssewanyana lwe yaloopa Magogo mu FIFA. Ssewannyana munnabyamizannyo era ye nnannyini Katwe United ate nga ku ludda oluwabula gavumenti ye yalondebwa nga Minisita w’ebyemizannyo.

Dayo 703x422

Mu bujulizi bwe yaweereza FIFA, Ssewanyana yalumiriza Magogo nti yakozesa bubi ofiisi mu ngeri ekontana n’amateeka ga FIFA nnamba 13, 18, 19, 20, 21 ne 22 nti n’atunda tiketi ezaali zirina okugulibwa Bannayuganda ku ssente entono okulaba emipiira gya World Cup ya 2014 egyategekebwa e Brazil.

Ssewanyana okwemulugunya kwe yakuwandiika nga May 30, 2017 ng’aloopera FIFA ekulemberwa Gianni Infantino. Empapula eziroopa, Ssewanyana yaziyise mu Kakiiko ka FIFA akakola ku kukwasisa empisa (FIFA Ethics Committee) ng’asaba banoonyereze ku Magogo okukozesa obubi ekifo ky’Obwapulezidenti n’atunda tikiti z’okulaba World Cup ezaali zirina okuweebwa Bannayuganda mu June – July 2014.

Ssewanyana ng’ayita mu munnamateeka we Allan Mulindwa, yalambika nti FIFA yawa Magogo tikiti 177 aziwe Bannayuganda ku nsimbi ensaamusaamu basobole okulaba World Cup kyokka Magogo nti yasalawo kuziryamu nsimbi ne zitatuuka ku Bannayuganda, ekikontana n’amateeka.

Mu nkola ya FIFA, amawanga gonna (omuli n’ago agatakiise) gaweebwa tikiti eza ssente eza wansi ennyo (Complimentary tickets) era ziyisibwa mu kibiina ky’omupiira mu ggwanga eryo era eza Uganda zaayitira mu FUFA. Mu biwandiiwo ebyaloopa, baalambika nti ku tikiti 177 ezaaweebwa Uganda, Bannayuganda 20 bokka be baafunako era be baagenda okulaba emipiira gino era nti tikiti endala 152, Magogo yazitunda n’azifunamu ssente ez’amangu.

Obujulizi obwaweerezebwa mu FUFA bulaga nti Magogo tikiti zino yaziguza Howard Schwartz owa kkampuni ya World Sports and Hospitality esangibwa mu Florida, Amerika era nga ddiiru tennakutuka, nti Magogo yasooka kuweebwaako ddoola za Amerika 40,000 (mu za Uganda obukadde 146).

Obujulizi bulaga nti Munnayuganda Peninah Kabenge Aligaweesa (akulira emizannyo gya Yunivaasite) ye yatuusa Howard Schwartz ku Magogo era Howard yasooka kuweebwa tikiti nnamba 62 ey’omupiira gwa Brazil eyali etegese, olwo ne bamwongera tikiti endala okuli nnamba 2, 3,13, 14, 31,36,39,40,42,43,4 5,46,47,49,50,55,56.58,60,61 era oluvannyuma ne bamuwa ne tikiti endala ezaali zisigaddewo.

Mu bye baawa FIFA baagattako ebiwandiiko omuli obujulizi obulaga engeri Magogo ne Howard gye babadde bakolaganamu n’okuteeseganya nga bayita mu kweweereza obubaka nga bakozesa Email.

Obujulizi obusinze okuteeka Magogo mu kattu bwetooloolera ku akawunti ya Howard nnamba 0102297477 mu Regions Bank Coral Spring Office, 2425 N obulaga engeri ssente gye zaatambulanga okuva ku akawunti y’Omumerika okujja mu Uganda.

Kigambibwa nti Magogo yatuuka ekiseera nga takyakwatagana bulungi na Howard oluvannyuma lw’okufuna tikiti entono kw’ezo ze yali asasulidde n’atandika okubanja “Bbaalansi”, nti era obutakwatagana obwo bye bimu ku byayambye FIFA okufuna obujulizi obutadde Magogo mu kaseera akazibu.

Kigambibwa nti n’abamu ku Bannayuganda abeetaba mu ddiiru eno abaali basuubira okufuna ku ssente ezo nabo bwe bataaweebwako ne “bazimba omutima” ne bawaayo obujulizi bwe baalina ku byaliwo.

Ssewanyana yategeezezza Bukedde eggulo nti musannyufu nnyo FIFA okuyimiriza Magogo kuba bangi baamuyita omuntu atategeera okuloopa Magogo nga bagamba nti tewali kye bayinza kumukola.

“Omupiira abantu balina okuguwa ekitiibwa kuba buli muntu agwetaaga. Olaba Gavumenti evaayo okuguteekamu ensimbi ng’ogamba nti ogenda kuguzannyiramu era abagukulembera balina okubeera abeesimbu.

Yagasseeko nti: FIFA okutwala emyaka ebiri ng’onoonyereza kitegeeza nti ensonga eyo n’obujulizi obwaweebwayo bulimu eggumba era Magogo ali mu kaseera kazibu okudda mu ntebe kuba bwe kinaazuulwa nti yatunda tikiti ezo, talina w’agenda kuwonera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsonga 220x290

FUFA etongozza kampeyini ya AFCON...

FUFA etongozza kkampeyini ya Uganda okugenda mu Africa Cup of Nations e Cameroon omwaka ogujja ne bateekawo engombo...

Fufaafconprepsoct23bukedde6 220x290

Cranes yaakutambulira mu Bombardier...

Abakungu ba FUFA bagamba nti ennyonyi ya Uganda Airlines y'egenda okubatumbuza nga bagenda okuzannya Burkina Faso...

Capture 220x290

Poliisi ekutte omuwala abba ssente...

Poliisi ekutte omuwala abba ssente ku masimu: Akoppa pin code n'azeesindikira

Buv1 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ebintu ku...

Omuliro gusaanyizzaawo ebintu ku kizinga e Buvuma

Kcca1 220x290

Ow'e Swaziland waakulamula ogwa...

Sifiso Nxumalo, Petros Mzikayifani Mbingo (Swaziland) ne Njabulo Dlamini (South Sudan)baakuyambako Thulani Sibandze...