TOP

Puleesa yeeyongedde eri omutendesi Zidane

By Ester Naluswata

Added 2nd October 2019

Real Madrid gy'atendeka yagudde maliri ne Club Brugge ekyakanze abawagizi baayo

Zidane11 703x422

Zidane

Eggulo ku Lwokubiri, Real Madrid yasiitaanye okufuna akabonero ku Club Brugge gye yattunse nayo mu Champions League. Baabadde ku kisaawe kya Real Madrid ekya Estadio Santiago Bernabeu kyokka ensiike eno, Club Brugge yasoose n'egikulembera ggoolo 2-0.

Kyatwalidde Real eddakiika 55 okufunayo ggoolo esooka ng'eyita mu Sergio Ramos olwo ne Casemiro n'ateeba ey'ekyenkanyi.

Wadde Real y'ekulembedde Real, enzannya yaayo tennamatiza bawagizi nga bagamba nti alonda bubi ttiimu. Bagamba nti ku mupiira gwe baazannye eggulo ku Lwokubiri, Zidane teyabadde na nsonga lwaki teyazannyisizza Gareth Bale kyokka yabadde mulamu bulungi.

Bagamba nti ggoolokipa Thibaut Courtois gw'awa emipiira, oluusi bimulema kyokka nga balina amusingako. Mu mpaka zino eza Champions League, guno mupiira gwakusatu nga Real tewangulira mu maka gaayo. Sizoni ewedde, CSKA Moscow ne Ajax zaagikubirawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi ekutte omuwala abba ssente...

Poliisi ekutte omuwala abba ssente ku masimu: Akoppa pin code n'azeesindikira

Buv1 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ebintu ku...

Omuliro gusaanyizzaawo ebintu ku kizinga e Buvuma

Kcca1 220x290

Ow'e Swaziland waakulamula ogwa...

Sifiso Nxumalo, Petros Mzikayifani Mbingo (Swaziland) ne Njabulo Dlamini (South Sudan)baakuyambako Thulani Sibandze...

Capture 220x290

Ab'abaana abasatu basiibuddwa mu...

Ab'abaana abasatu basiibuddwa mu ddwaliro: Balaajanidde abazirakisa okubadduukirira

Lip3 220x290

Ogw'okutta Mozey Radio gw'akusalibwa...

Ogw'okutta Mozey Radio gw'akusalibwa nga 28 omwezi guno