TOP
  • Home
  • Rally
  • Abanaasinga mu ddigi baakuyoola kavvu

Abanaasinga mu ddigi baakuyoola kavvu

By Ismail Mulangwa

Added 2nd October 2019

Ku mitendera omunaana abavuzi kwe bagenda okuvuganyiza, buli gumu guliko ssente ez’enjawulo abavuzi ze bagenda okulwanira e Busiika

Bboodaboda 703x422

Abamu ku bavuzi ba bboodaboda abagenda okwetaba mu mpaka za ddigi okuva ku kkono ye Tonny Kibirango, Peter Sentamu, Akram Kiyemba, Frank Kiyemba, kituunzi wa bbanka ya Exim Caroline Asiimire ne Steven Bako ku ddyo.

EMPAKA za ddigi ezisoose okubaawo mu ggwanga nga zaakusiima bannamagye olw’emirimu gye bakoledde eggwanga zeeyongeddemu ebbugumu, oluvannyuma lw’akakiiko akategesi okusaawo ensiimbi ezigenda okuwangulwa.

Abavuzi olwawulidde ku ssente zino ezaatereddwaawo abamu okwabadde Malcom Lubega yaawoneddewo ebisago n’agamba nti ayagala kuwangula ssente teri kirala.

Ku mitendera omunaana abavuzi kwe bagenda okuvuganyiza, buli gumu guliko ssente ez’enjawulo nga ku zino kuliko;

Omutendera ogwabakafulu (MX1) n’oguguddirira (MX2) buli mu wanguzi agukulebera waakubukayo ne ddoola 3,000 mu za Uganda 10,950,000/, owookubiri ddoola 2,000 (7,300,000/-) ate owookusatu waakufuna ddoola 1,000 (3,650,000/-).

Mu bannamukadde (MX VETS) asooka waakwewangulira ddoola 1,000 (3,650,000/-), owookubiri ddoola 600 (2,190,000/-) ate owookusatu ddoola 400 (260,000/-).

Abali mu mutendera ogwookusatu (MX125) n’ogwokuna (MX85), abawanguzi baakuweebwa 3,000,000/-, owookubiri (2,000,000/-) ate owookusatu afune 1,000,000/-.

Wadde nga mu mpaka ezimu abaana abato tebateera kuweebwa ssente, mu zino tebabasuliridde kuba mu mutendera ogwa MX65cc, MX50 ne Pawee abamalira mu kifo ekisooka, ekyokubiri n’ekyokusatu baakufuna 2,000,000/-, 1,000,000/- ne 500,000/- (okusinziira ku kifo).

Empaka zino zigenda kubeera Busiika ku Ssande nga zaakulagibwa layivu ku Urban TV, eri wansi wa Vision Group efulumya ne Bukedde. Okuyingira abakulu bakusasula 15000/- ate abato 5000/-.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fufaafconprepsoct23bukedde6 220x290

Cranes yaakutambulira mu Bombardier...

Abakungu ba FUFA bagamba nti ennyonyi ya Uganda Airlines y'egenda okubatumbuza nga bagenda okuzannya Burkina Faso...

Capture 220x290

Poliisi ekutte omuwala abba ssente...

Poliisi ekutte omuwala abba ssente ku masimu: Akoppa pin code n'azeesindikira

Buv1 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ebintu ku...

Omuliro gusaanyizzaawo ebintu ku kizinga e Buvuma

Kcca1 220x290

Ow'e Swaziland waakulamula ogwa...

Sifiso Nxumalo, Petros Mzikayifani Mbingo (Swaziland) ne Njabulo Dlamini (South Sudan)baakuyambako Thulani Sibandze...

Capture 220x290

Ab'abaana abasatu basiibuddwa mu...

Ab'abaana abasatu basiibuddwa mu ddwaliro: Balaajanidde abazirakisa okubadduukirira