TOP

Musagala ne Nanyondo bali bulindaala

By Nicholas Kalyango

Added 3rd October 2019

Ku ssaawa 4:00 ne 5:00 ez'ekiro mu mpaka za IAAF World Championship, Bannnayuganda 2 bagenda kubeera mu nsiike.

Grap 703x422

RONALD Musagala leero, ali mu nsiike mu mmita 1500 mu gy'ensi yonna egya 'IAAF World Championship' egiyindira mu Doha ekya Qatar. Akolerera kulaba nga yeesogga semi. Yawangula emisinde gya 'IAAF Diamond League' egyali e Bufalansa mu August bwe yaddukira eddakiika 3.30.58 n'assaawo likodi ya Uganda empya mu mmita ze zimu.

Nga yaakawangula Diamond League, Musagala yategeeza nti zimuwadde okusoomoozebwa ng'alina okukola ennyo okulaba ng'awangula omudaali mu mpaka z'ensi yonna.

Mu za leero, waakusinga kubiisana ne Ayanleh Souleiman enzaalwa y'e Djibouti, eyassa likodi y'ensi mu mmita zino, ku ddakiika 3:29.58.

 anyondo ngadduka u katono ngajaganya ne akaayi eyawangula zaabu Nanyondo ng'adduka. Mu katono ng'ajaganya ne Nakaayi eyawangula zaabu.

 

Mu ngeri y'emu, Winnie Nanyondo, yeesozze semi mu mmita 1500 mu kakung’unta akaabaddewo eggulo ku Lwokusatu leero akomawo nsiike ng’alwana kwesogga fayinolo egenda okubeerayo  ku Lwomukaaga.

Nanyondo ayagala okuva e Qatar ng'awanguddeyo omudaali oluvannyuma lw'okumalira mu kyokuna mu mmita 800 ezaawanguddwa Halima Nakaayi ku Mmande.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsonga 220x290

FUFA etongozza kampeyini ya AFCON...

FUFA etongozza kkampeyini ya Uganda okugenda mu Africa Cup of Nations e Cameroon omwaka ogujja ne bateekawo engombo...

Fufaafconprepsoct23bukedde6 220x290

Cranes yaakutambulira mu Bombardier...

Abakungu ba FUFA bagamba nti ennyonyi ya Uganda Airlines y'egenda okubatumbuza nga bagenda okuzannya Burkina Faso...

Capture 220x290

Poliisi ekutte omuwala abba ssente...

Poliisi ekutte omuwala abba ssente ku masimu: Akoppa pin code n'azeesindikira

Buv1 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ebintu ku...

Omuliro gusaanyizzaawo ebintu ku kizinga e Buvuma

Kcca1 220x290

Ow'e Swaziland waakulamula ogwa...

Sifiso Nxumalo, Petros Mzikayifani Mbingo (Swaziland) ne Njabulo Dlamini (South Sudan)baakuyambako Thulani Sibandze...