TOP

Ebya Emery ne Ozil bibuzaabuza

By Ester Naluswata

Added 3rd October 2019

Emery agamba nti alina abazannyi ba akademi abamulaze nti basobola era waakubawa omukisa okulaga kye balinawo.

Ozil 703x422

Emery ne Ozil

UNAI Emery atendeka Arsenal tatidde kuviibwako Mesut Ozil mu katale k’abazannyi mu January.

Ozil, ye muzannyi asinga okusasulwa mu Arsenal ng’afuna pawundi 350,000 buli wiiki kyokka Emery akyalemeddwa okumuggyamu ekigya mu nsimbi z’asasulwa.

Wadde nga muzannyi waabwe kati, Emery agamba nti eky’okumutunda takirinaamu buzibu kuba kati alina abazannyi abawera abamuwa ky'ayagala ensangi ensangi zino.

Mu mipiira egiyise, Emery yeesigamye nnyo ku bazannyi ba akademi ya Arsenal nga Bukayo Saka ne  Emile Smith Rowe era bafunye omukisa okubeera mu ttiimu etandika. Agamba nti waakwongera okuwa abaana bano omukisa okulaga kye balinawo.

“Buvunaanyizibwa bwange okuwa buli muzannyi omukisa okulaga ky’alinawo era abazannyi bannamukadde ba ttiimu abataasobole kwerwanako, bubakeeredde,” Emery bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ras13 220x290

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February

Soz1 220x290

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba...

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako

Dit1 220x290

Obugagga bwange buli mu mbizzi...

Obugagga bwange buli mu mbizzi

Gat1 220x290

Owa LDU akubye omuntu essasi mu...

Owa LDU akubye omuntu essasi mu kumukwata