TOP
  • Home
  • Mupiira
  • ManU erina essuubi okufuna wiini mu za Europa

ManU erina essuubi okufuna wiini mu za Europa

By Ester Naluswata

Added 3rd October 2019

Omutendesi Solskjaer ali ku puleesa ng'abamu ku baaliko bassita ba ManU bagamba nti 'ebintu' bimulemye.

Solskjaer 703x422

Solskjaer, atendeka ManU

MANCHESTER United erina essuubi ly’okuwangula omupiira gwayo ogwokubiri mu mpaka za Europa.

Ekyalidde AZ Alkmaar ey’e Budaaki wabula wiiki bbiri emabega, ManU yafuna obuwanguzi ku Astana eyali egikyalidde ku Old Trafford. Ku mulundi guno, ebintu bikyuse nga mu mipiira 3 egisembyeyo mu mpaka za Premier ne League Cup tekuli mupiira gw’ewangulidde mu ddakiika 90.

Kino kyongedde okussa omutendesi Gunnar Solskjaer ku bunkenke ng’abaaliko bassita ba ManU baagala abaviire mu kintu.

Leero ku Lwokuna ku ssaawa 1:55 ez’akawungeezi, ali mu nsiike okukakasa abamugobaganya nti asobola. Wadde ng’alina abazannyi abawerako abalina obuvune, mugumu nti waakuva e Budaaki, n’obuwanguzi. Mu bazannyi ba ManU balina obuvune kuliko; Anthony Martial abulina mu kisambi, Luke Show nga ne Wan Bissaka alinamu obukosefu kyokka ne Paul Pogba, akakongovvule kakyamuluma..

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsonga 220x290

FUFA etongozza kampeyini ya AFCON...

FUFA etongozza kkampeyini ya Uganda okugenda mu Africa Cup of Nations e Cameroon omwaka ogujja ne bateekawo engombo...

Fufaafconprepsoct23bukedde6 220x290

Cranes yaakutambulira mu Bombardier...

Abakungu ba FUFA bagamba nti ennyonyi ya Uganda Airlines y'egenda okubatumbuza nga bagenda okuzannya Burkina Faso...

Capture 220x290

Poliisi ekutte omuwala abba ssente...

Poliisi ekutte omuwala abba ssente ku masimu: Akoppa pin code n'azeesindikira

Buv1 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ebintu ku...

Omuliro gusaanyizzaawo ebintu ku kizinga e Buvuma

Kcca1 220x290

Ow'e Swaziland waakulamula ogwa...

Sifiso Nxumalo, Petros Mzikayifani Mbingo (Swaziland) ne Njabulo Dlamini (South Sudan)baakuyambako Thulani Sibandze...