TOP

Nakaayi; Famire ye eyagala abbulwemu oluguudo

By Silvano Kibuuka

Added 4th October 2019

Halima Nakaayi eyawangudde zaabu mu misinde gy’ensi yonna, okudduka yakuggya ku ngozi kuba nnyina Rose Nagadya naye yali muddusi.

Nakaayi1 703x422

Nakaayi n’omudaali gwa zaabu gwe yawangudde.

Halima Nakaayi eyawangudde zaabu mu misinde gy’ensi yonna, okudduka yakuggya

ku ngozi kuba nnyina Rose Nagadya naye yali muddusi. 

Nagadya yasangiddwa mu maka gaabwe e Nammengo mu Lugazi ng’ali ne bba Ahmed Makumbi n’aba famire abalala era nga bajaganya obuwanguzi bwa muwala waabwe.

 

 

 akaayi ngadduka Nakaayi ng’adduka.

 SILVANO KIBUUKA akutuusaako ebibakwatako; Nakaayi teyakoma ku kufaanana nnyina mu ndabika wabula n’ekitone mu misinde yakimuwaako. 

Nnyina Nagadya agamba nti musanyufu olwa muwala we eyatadde Uganda ku maapu y’ensi yonna kyokka n’abeddira Embogo nabo n’abawanika. 

“Nnali muddusi mu misinde gy’akafubutuko n’okuwaanyisa obuti (relays) 

mu Kotole P/S e Najjembe era nakiikirirako ggombolola mu mpaka za disitulikiti e Lugazi.

 

Singa nange nafuna abankwatako osanga nandikoze muwala wange ky’akoze”, Nagadya bwe yategeezezza.

 

Agambye nti omusaayi gulondoola kuba ne muto wa Nakaayi, Khalid Walakira asomera ku bbasale lwa misinde ku Standard High e Zzana nga kati ali mu S4. 

Nagadya yagambye nti Nakaayi emisinde yagitandikira mu P.3 mu Najjembe P/S olwo

amasomero ne gatandika okumuyaayaanira okumuwa sikaala era Mukono Children’s

Home e Nakabago eryali likulirwa Douglas Kisawuzi ne lisinza amaanyi ng’eyo gye yatuulira P 7. 

Baamukwataganya ne Bombo SS n’addukira kiraabu yaabwe ku bbasale n’asomerayo S4 ne S6 olwo ne yeegatta ku Kampala University n’afuna ddiguli nga kati addukira kiraabu ya Uganda Wildlife Authority (UWA). 

“Yayagalwa nnyo abatendesi b’emisinde olwa ttalanta ate ng’ajjumbira okutendekebwa era tetwamenyeka na ffiizi okuggyako okumukyalira n’okugula ebyokulya. Twamalako

ekiseera nga tetumanyi ne gy’abeera watuufu okuggyako okuwulira nti bali mu kkampu mu kutendekebwa”, Nagadya bwe yategeezezza. 

Abazadde be bagamba nti bwe yali akyali omuto, ng’okumutuma awantu agenda adduka n’okudda bwatyo. Baayongeddeko nti bwe yayingira ekisulo, nga mu luwummula anoonya akafo aw’okuddukira.

 

 bamu ku bafamire ya akaayi  itaawe omuto dumba ku kkono kitaawe akumbi kibula akazzi nnyina omuto udaya anyanzi ssengaawe ne ehema ankabirwa mutoowe aasangiddwa ammengo e ugazi Abamu ku bafamire ya Nakaayi . Kitaawe omuto, Ddumba (ku kkono), kitaawe Makumbi, kibula Nakazzi (nnyina omuto), Yudaya Nanyanzi (ssengaawe) ne Rehema Nankabirwa mutoowe. Baasangiddwa Nammengo e Lugazi.

 

 

 

“Oluusi namuwerekeranga mu bikajjo e Lugazi ng’adduka ne nsigala nga nkuuma

ebintu bye n’okutonnyeza emirundi gy’adduse okwetooloola w’aba ayagadde”, nnyina

bw’amutenda okwagala emisinde. 

Kitaawe omuto, Siraje Ddumba naye yategeezezza nti yali muddusi wa ‘lire’ mu Kasoga P/S mu Buikwe ne Vvumba SS wabula bwe yagenda e Duhaga SS mu Hoima ne yeemalira mu bitabo, ttalanta n’agisuula. 

Obuzaale

Nagadya agamba nti Nakaayi yamuzaalira waka ku kyalo Ssese mu muluka Nsakya mu ggombolola y’e Najjembe mu 1995 era teyalwalalwala mu buto wadde mu S6 yafunako obuvune obwamutawaanya mu kugulu okumala akaseera. 

Abazadde be bagamba nti Nakaayi ayagala nnyo eddiini ye ey’Obusiraamu era bamusuubira okufuuka Hajati.

 

 agadya maama wa akaayi Nagadya, maama wa Nakaayi.

 

 

Famire Etandise enkiiko z’okumwaniriza

Ddumba, omukulu w’oluggya agambye nti baakulomba dduwa nga yaakatuuka awaka

n’okukola embaga era ng’abasuula omukono asobola okuyita ku ssimu 0754907149.

Agambye nti bakyalinda n’enteekateeka za gavumenti ku binaddako mu kwaniriza

ttiimu e Ntebe.

Nakaayi awangulidde Uganda zaabu e Doha

Nakaayi aleese Zaabu

Nakaayi amalidde mu kya kubiri ne yeesogga eza IAAF

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...

Fari1 220x290

Laba amaziga g’essanyu.

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye...

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona...

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.

Buloba1 220x290

Blick afunzizza engule y'ezaakafubutuko...

Blick kati abuzaayo empaka za mirundi 2 (Kapeeka ne Boxing day)okulangirirwa nga kyampiyoni w'ezaakafubutuko....

Img3804webuse 220x290

Ekivvulu kya Toto kiri mu ggiya...

Ekivvulu ky'abaana ekya ToTo ekitegekebwa Vision Group kyengedde nga kati olwa December 8 lwe lulindirirwa lwokka...