TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Cheptegei akikoze n'era: Awangulidde Uganda omudaali gwa zzaabu

Cheptegei akikoze n'era: Awangulidde Uganda omudaali gwa zzaabu

By Musasi wa Bukedde

Added 6th October 2019

Munnayuganda Cheptegei awangudde omudaali gwa zzaabu mu fayinolo z'embiro za World Athletics Championships eza mmita 10000

Egnpghkx0aaszjx 703x422

Munnayuganda Cheptegei awangudde omudaali gwa zzaabu mu fayinolo z'embiro za World Athletics Championships eza mmita 10000.

Munauganda Joshua Cheptegei awangulidde Uganda omudaali gwa zaabu ogw'okubiri mu mpaka z'okudduka ezensi yonna e Doha ekya Qatar.

Omuduusi ono omudaali guno aguwangudde mu mita 10,000 ku ntikko zemisinde egikomenkerezebwa enkya ku Mande.

Aziwangudde mu ddakika 26 sikonda 48 nobutundu 36 oluvanyuma lwokulebya aba Ethiopia ne Banakenya mu misinde egebadde egya kasameeme era agyatadde abalabi ku bunkeke.

Guno gwe omudaali ogwa zzaabu ogwokubiri okuwangulwa okugatta ku gwa Halima Nakaayi mu mita 800.

Era likoodi endala eyateekeddwawo mu mpaka zino kwe kuba nti oluyimba lwe ggwanga lwayimbiddwa emirundi ebiri ekitabangawo mu mpaka zino.

Cheptegei atuuse ku buwanguzi buno obwamaanyi nga omuntu oluvanyuma lwe yasemba okuwangula ogwa siliva mu mita 10,000 ezasemba okubeera my 2017e London eBungereza.

Bukya Uganda entandeka okwetaba mu mpaka zino, Kati yakawangula egya zaabu ena okuli ogwa Dorcus Inzikuru (3000SC), Stephen Kiprotich (marathon), Halima Nakaayi (800m) ne Joshua Cheptegei (10,000) wamu ne siliva era gyeyawangulako Edda.

Kati Bannayuganda Johua Cheptegei, Halima Nakaayi ne munne Winnie Nanyondo babuseeyo ne kavu wa ddoola za America ng'akasiimo k'okukola obulungi mu mpaka zino ez'ensi yonna.

Joshua ne Nakaayi beewangulidde ddoola 60,000 buly'omu oluvannyuma lw'okuwangula omudaali gwa zzaabu.

Ate Nannyondo naye n'agwa mu bintu bwe yabuuseeyo ne ddoola 15,000 olw'okukwata ekifo ekyokuna mu misinde gye gimu.

Zino ze zimu ku nsimbi Bannayuganda ze bafunye ku birabo ebiwakanirwa mu mpaka zino.

Akasiimo Kano akawezza miliyoni 7,530,000 omugatte katekebwawo ekibiina ekifuga emisinde mu nsi yonna, International Association of Athletics Federations - IAAF - okusiima abaddusi omunaana abaatuuse ku fayinolo mu mpaka 49 ez'enjawulo.

Ensegekka y'akasiimo:

  1. Zaabu - 60,000 egya doola
  2. Siliva - ddoola 30,000
  3. Kikomo - ddoola 20,000
  4. Akatwa ekyokuna afuna ddoola 15,000 
  5. 10,000 ddoola
  6. 6,000 ddoola
  7. 5,000 ddoola
  8. 4,000 ddoola.

Empaka Cheptegei z'azze awangula

  1. Omuddusi Cheptegei awangudde omudidi mu za California

  2. Cheptegei agaanyi okuddamu okuvuganya ne Mo Farah

  3. Cheptegei alondeddwa ku ky'omuzannyi wa January

  4. Aba USPA balonze Cheptegei ku ky'omuzannyi wa July

  5. CHEPTEGEI: Agguliddewo Uganda okuwangula emidaali mu Commonwealth

  6. Cheptegei awangulidde Uganda omudaali omulala ogwa zaabu

  7. Cheptegei awangudde Feeza e Bungereza

  8. JOSHUA Cheptegei atagalidde mu misinde ebyafaayo ne bimuyita mu ngalo

  9. Joshua Cheptegei awangulidde Uganda omudaaali ogwa zaabu omulala

  10. Munnayuganda ayawuliddwa ku budiikoni bw’Eklesia

  11. Cheptegei asowodde Bannakenya ennimi

  12. Cheptegei ataddewo likodi ng'awangula emisinde

  13. Cheptegei amenye likodi

  14. Joshua Cheptegei awangudde egy'e Spain

  15. Joshua Cheptegei awangudde egy'e Spain

  16. Eyawangulidde Uganda omudaali gwa zaabu addidde mu bitiibwa

  17. Munnayuganda Cheptegei yeesozze fayinolo

  18. Joshua Cheptegei anaadduka mu z'e Qatar

  19. Cheptegei amalidde mu kyakusatu e China

  20. Eyawangulidde Uganda zaabu Museveni amuyiyeemu kapyata

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 
 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.