OMUTENDESI wa Maroons FC, Douglas Bamweyana n’omuteebi wa Vipers, Fahad Bayo, basitukidde mu birabo by'abasinze okukola obulungi mu September, mu StarTimes Uganda Premier League.
Bamweyana yayambye Maroons okufuna wiini 3 mu September, nga yamezze Edward Kaziba owa Villa, sso nga Bayo, eyateeba ggoolo 3 mu mwezi gwe gumu, y’amezze David Owori (Villa) ne Steven Mukwala owa Maroons.
Bombi kkampuni ya Nile Breweries, ng'eyitira mu Pilsner Lager, ogumu ku myenge gye basogola, yabawadde ebirabo ne 1,000,000/- .

“Ekirabo kino kibadde kinsaana kuba nkikoleredde, era ng’enda kwongeramu amaanyi sizoni yonna okulaba nga ggoolo nziteeba,” Bayo bwe yategeezezza.