TOP

Bale akaaye

By Ester Naluswata

Added 8th October 2019

Bale agamba nti tayinza kubeera mu ttiimu etemuwa kuzannya mipiira gya Champions League.

Bale11 703x422

bale

GARETH Bale yeeyongedde okutaama n'addara bakama be aba Real Madrid okumutunda. Kino kiddiridde obutamuwa mupiira gwa Champiosn League, Real Madrid gwe yaggwiiriddemu amaliri ne Club Brugge (2-2) wiiki ewedde.

Mu katale k'abazannyi akawedde, yalemerako nnyo atundibwe oluvannyuma lw'omutendesi Zinedine Zidane okutegeeza nga bw'atagenda kumussa mu ttiimu y'abazannyi 11 abasooka mu kisaawe era ttiimu z'e China, ne zeesoma okumuwonya Real kyokka ne ziremwa okumugula

Wabula nga sizoni etandika, Zidane yamuwadde emipiira era mu mipiira 6 egyasoose, yabaddemu. Kyokka ekya Zidane obutamuwa mupiira gwa Champions League nga bazannya ne Club Brugge kimunyize n'ategeeza nti bwe baba tebamwataaga bamutunde kuba ye tayinza butazannya ku Champions League ng'ate ali mu ttiimu eyayitamu okugizannya.

Ku wiikende baazannye Granada mu La Liga era yabaddemu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mag1 220x290

Omubaka wa Igara West Rafael Magyezi...

Omubaka wa Igara West Rafael Magyezi eyaleeta ekiteeso ky'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti aweereddwa obwa...

Bra1 220x290

Biibino bye wasubiddwa mu mpaka...

Biibino bye wasubiddwa mu mpaka z'emisono

Ritahpenny1 220x290

Akabaga k’amazaalibwa ga Ritah...

Ritah Penny bamukoledde akabaga k'amazaalibwa akamucamudde.

Lytobosswife4 220x290

Mukyala wa Lyto Boss asulirira...

Omuyimbi Lyto Boss yeesunga 'ssukaali' mukyala we asulirira kuzaala

Hazard333 220x290

Hazard asuubizza aba Chelsea

Hazard agamba nti bw'aliba avudde mu Real Madrid, ayinza okuddayo mu Chelsea.