TOP
  • Home
  • Akadirisa
  • Agenze mu kkooti lwa ttiimu ye kugaana kumutunda

Agenze mu kkooti lwa ttiimu ye kugaana kumutunda

By Ester Naluswata

Added 8th October 2019

Zaha agamba nti yali yeetegese okuva mu Crystal Palace nga ne ttiimu ezimugula weeziri kyokka ne bamulemesa

Zaha12 703x422

Zaha

OMUTEEBI Wilfried Zaha atwala kitunzi we, Will Salthouse mu kkooti lwa kulemwa kuyisaamu ddiiru emuggya mu Crystal Palace.

Mu katale k’abazannyi akawedde, ttiimu ez’enjawulo zaali zaagala kumugula okwali Arsenal ne Everton era naye ng’omuzannyi ng’ayagala kuva mu Crystal Palace.

Kyokka enteeseganya tezaavaamu kalungi okukkakkana ng’asigadde. Ye Zaha agamba nti kitunzi we, Salthouse munywanyi nnyo wa Steve Parish, ssentebe wa Crystal Palace nga kyandiba nga baateesa ssita ono asigale. Zaha agamba nti k’amutwale mu kkooti amunnyonnyole ekyamulemesa okukutula ddiiru.

Omwaka oguwedde, Zaha lwe yaweereddwa endagaano empya ey’emyaka 5 era ng’asasulwa pawundi 130,000 buli wiiki. Mino Raiola, kitunzi wa Pogba ayagala kufuuka kitunzi we.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Abazigu balumbye omusomesa ne bamusalako...

Abazigu balumbye omusomesa ne bamusalako obulago

Full1 220x290

Abawagizi ba Kenzo beesunga kumwaniriza...

ABAWAGIZI ba Eddy Kenzo ab'omunda, leero basiibye beetala nga beetegekera okumwaniriza.

Blackwomancrying 220x290

Embeera ezireetera omukazi okuyungula...

Abakazi abo tobalaba kukaaba nga bali mu kikolwa n'olowooza nti beekaabya! Nedda, oluusi baba mu bulumi olw'embeera...

Deb1 220x290

Omumbejja Nassolo asiimye abaliko...

Omumbejja Nassolo asiimye abaliko obulemu

Pregnantworried1 220x290

Kandida taakose bbebi?

Ssenga bwe nafuna olubuto kandida yagaana okugenda, nkoze ntya, kubanga kati buli kiseera mbeera mu kwetakula olwa...