TOP
  • Home
  • Rally
  • Owa mmotoka esikira ku mipiira ebiri awere

Owa mmotoka esikira ku mipiira ebiri awere

By Gerald Kikulwe

Added 8th October 2019

Owa mmotoka esikira ku mipiira ebiri aweze nga bw'atagenda kukkiriza muntu yenna kwekiika mu kkubo lye ery'okusitukira mu ngule y'eggwanga

Negombaweb 703x422

Negomba mu mmotoka ye ekika kya Toyota FX , esikira ku mipiira ebiri

OLUVANNYUMA lwa Sadat Negomba okusitukira mu mpaka za mmotoka ezisikira ku mipiira ebiri (2WD), kati yeepira z’e Hoima, ataangaaze emikisa gy’okusitukira mu ngule y’omwaka guno eya  NRC2.

Bukya Negomba yeegatta mu lwokaano lwa mmotoka emyaka ena emabega, tabeerangako kyampiyoni wa mpaka zonna, okutuusa mu August w’omwaka guno bwe yeggyeeko ekikwa n’akulembera ez’e Fort Portal.

Ku wiikendi ya October  17-20, abavuzi ba mmotoka lwe baddamu okutokosa ebyuma mu mpaka za ‘2019 Total Kabalega Rally' era Negomba atuula bufoofofo okulaba ng’amegga banne yeewangulire engule ye esoose.

 harifah amagoba ku ddyo ngakwasa  egomba ekirabo kyokuwangula eze ort ortal Sharifah Namagoba (ku ddyo), ng’akwasa Negomba ekirabo ky'okuwangula ez'e Fort Portal

 

“Nayingira ez’e Fort Portal ng’essuubi ly’engule y’omwaka sirina, naye kati kyengoba nkirabako, njagala kusitukira mu z’e Hoima, nninde ez’e Mbale ,” Negomba bwawera

Negomba alina obubonero 45 emabega wa Samuel Watendwa (50) ne Fred Ssenkumba (47), ng’okusitukira mu mgule y’omwaka guno, alina okuwangula empaka ez’emirundi ebiri ezibulayo (Kabalega ne Mbale).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Rally 220x290

Laba ebbinu eribeera mu mmotoka...

ONOONYA ssanyu lya ku nsi, olina situleesi oba onoonya wa kuliira bulamu.Alina mmotoka gikube ekisumuluzo, owa...

Thumbnailrevmwesigwabyjmutebi5 220x290

Rev. Mwesigwa ebintu bimukyukidde:...

REV. Isaac Mwesigwa poliisi bwe yamukwasa aba famire ye, yalowooza nti ebintu biwedde kyokka ebigambo byamukalidde...

Mze 220x290

Owapoliisi atuuyanye mu gwa Kanyamunyu...

OMULAMUZI Steven Mubiru akiguddeko oluvannyuma lw’omuserikale wa poliisi eyabadde azze okulumiriza Mathew Kanyamunyu...

Bobi 220x290

Mayinja ensi ekulaba - Bobi

Bobi yasabiddwa okwongera okuttaanya ku njawukana eziriwo wakati w'abakulembeze ba People Power ne Ronald Mayinja...

Audience 220x290

Akubye amasasi mu badigize n'attirawo...

OMUVUBUKA alumbye abadigize mu bbaala n’abasindirira amasasi agattiddewo abantu mwenda. Poliisi bw’egezezzaako...