TOP
  • Home
  • Ebirala
  • Aba famire emu bakukumbye emidaali 25 mu kuwuga

Aba famire emu bakukumbye emidaali 25 mu kuwuga

By Samson Ssemakadde

Added 8th October 2019

Bamusaayimuto okuva mu famire emu beefuze empaka z'okuwuga bwe baawangudde emidaali kumpi kugibamalako

Swimweb 703x422

Abawala okuva mu masomero ag'enjawulo nga battunka mu kuwuga

 

FAMIRE emu  eraze  b'ebadde evuganya nabo mu kuwuga nti baabigere, bwe bakukumbye emidaali 25!

Tendo Mukalazi ne Kirabo Namutebi baalese bannaabwe babanyenyeza mitwe, Mukalazi bwe yawangudde emidaali 10 (egya zaabu 4, feeza 4 n’egyekikomo 2), ate Namutebi n’asitukira mu gya zaabu 11, kwe yagasse ehya feeza 4.

Bombi baana ba Hadija Namanda, akulira ekibiina ekitwala volleyball mu ggwanga, Uganda Volleyball Federation, nga baabadde mu mpaka z’okuwuga ezaabadde ku Kampala International School e Bukoto.

 oses wase ku ddyo omuwandiisi wekibiina ekifuga omuzannyo gwokuwuga mu ggwanga ngakwasa ttiimu ya ga han ekikopo u ddyo ye amutebi ne ukalazi abaakikiridde ritish chool of ampala eryakutte ekyokubiri Moses Mwase (ku ddyo), omuwandiisi w'ekibiina ekifuga omuzannyo gw'okuwuga mu ggwanga ng'akwasa ttiimu ya Aga Khan ekikopo Ku ddyo ye Namutebi ne Mukalazi abaakikiridde British School of Kampala eryakutte ekyokubiri.

 

Empaka zino, eza National Independence Swimming Gala, zaabadde za mulundi gwa 18, nga zaategekeddwa ekibiina ekitwala omuzannyo gw’okuwuga mu ggwanga, ekya Uganda Swimming Federation, n’ekigendererwa ky’okukuza Ameefuga ga Uganda og'omukundi ogwa 57.

Mukalazi yawangulidde mu balina emyaka 15 n’okudda waggulu, ate Namutebi mu balina emyaka 13 ne 14, wabula essomero lya Aga Khan lye lyasinze mu masomero 23 ageetabye mu mpaka zino.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo

Sam13 220x290

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e...

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e Mawogola Ambulance n'ebimotoka by'amazzi mu kaweefube w'okutangira COVID-19

Rob12 220x290

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo...

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo embeera y'okulwanyisa COVID-19

Dav1 220x290

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa...

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa ekirwadde kya Coronavirus

Thequeeneliabethiienglandcrowntodaynewslatestroyalfamily1180775 220x290

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu...

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu