TOP

Basiponsa ba ManU beecanze

By Ester Naluswata

Added 11th October 2019

Chevrolet erangira ku mujoozi gwa ManU egamba nti tennafuna mu nsimbi ze yassa mu ManU kuba evuya buvuya.

Pogba1 703x422

Pogba ng'ayambadde omujoozi gwa ManU oguliko Chevrolet erangirako

BULI lukya, ebintu byeyongera kubijjira ManU nga kati basiponsa baayo ab'oku mujoozi, batiisa butazza ndagaano yaabwe buggya.

Bano be ba Chevrolet abalangira ku mujoozi gwabwe. Chevrolet, emu ku kkampuni enkozi ya mmotoka mu Amerika. Endagaano y'okulangira ku mujoozi gwa ManU baagikola mu 2012 nga Sir Alex Ferguson y'akyali mu mitambo gya ManU ng'era ttiimu eno esanyusa buli omu nga buli mpaka ze yeetabamu ebalirwa ku kikopo. Chevrolet, yawa ManU obukadde bwa pawundi 410 era ne batandika okulangira ku mujoozi gwayo mu 2014 mu ndagaano ey'emyaka 7.

Kyokka abakulira kkampuni eno bagamba nti bye baasuubira si bye biriwo nga mu kiseera kino, ManU yafuuse kimpenkyekubire. Mu Premier, ttiimu eziri mu bifo ebisalwako ezisinzaako obubonero bubiri bwokka era Chevrolet egamba nti yali yeesunze okulaba ku ManU ng'ewangula ebikopo, ng'eyambadde omujoozi oguliko ekigambo Chevrolet nga bwe bagikwasa ebikopo kyokka kati ne Champions League tekyazannya.

Kyokka waliwo n'abagamba nti ensimbi ennyingi ze baasasula, zibaluma nga tebaagala kuzza ndagaano yaabwe buggya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssekamanya00webuse 220x290

Obutabanguko mu maka bwongedde...

Omusumba eyawummula, Mathias Ssekamaanya asabye abafumbo okufunaolunaku bakubaganye ebirowoozo ku ntambula y'amaka...

Kib2 220x290

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi...

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi zikuwa obukadde 4 bw'ozikamulamu butto ? Soma emboozi y'omukenkufu

Mesachssemakulanemukyalawe 220x290

Mesach njagala mbaga

Sarah Nakkaayi mukyala w'omuyimbi Mesach Ssemakula (Golden Papa) ateze bba akamasu. Amusuddeko akabaga k'amazaalibwa...

Dit2 220x290

Noah Kiyimba asabye abakulembeze...

Noah Kiyimba asabye abakulembeze b'e Butambala okkolera awamu

Ta 220x290

Bannansi beesiga bakulembeze ba...

POLOF. Julius Kizza okuva mu yunivasite e Makerere agambye nti bannansi okumanyisibwa ebifa mu gavumenti tekubeera...