TOP
  • Home
  • Rally
  • Aba mmotoka z'empaka babanguddwa

Aba mmotoka z'empaka babanguddwa

By Nicholas Kalyango

Added 11th October 2019

Mu kawefube w'okulwanyisa obubenje mu muzannyo, abavuzi n'abakungu ba mmotoka z'empaka babanguddwa ku ngeri y'okubutangira.

Safety 703x422

Abamu ku bakungu ba mmotoka z'empaka nga bazikiza emmotoka eyali ekutte omuliro.

October 17-20, Hoima Rally

NG’ABAVUZI ba mmotoka z’empaka beetegekera okuvuganya mu mpaka eziddirira ezisembayo ku kalenda, nga n’ekibiina ekitwala omuzannyo bwe kirwana okugugobamu obubenje, kiraabu ya UMOSPOC egenda okutegeka empaka z’e Hoima yatikkuddwako omugugu.

Bano baajuniddwa Victoria University, eyabawadde omusomo ku bwereere okubangula abavuzi n’abakungu abalala abali mu muzannyo ku ngeri y’okwetangiramu obubenje.

Okusinziira ku Jas Mungoma, abavuzi n’abakungu basomeseddwa leero (Lwakutaano). “Omuzannyo gwa mmotoka gwa bulabe. Twetaaga buli omu okubeera omusaale mu kulwanyisa obubenje. Twagala buli mpaka ziggwe nga temuli kabenje era mu kino tulina kusomesa buli ali mu muzannyo,” Mungoma bwe yagambye.

Empaka z’e Hoima zaakusalawo kinene ku bagenda okuwanguala engule z’eggwanga esatu; National Rally Championship (NRC), 2Wheel Drive (2WD) ne Clubman Rally Championship (CRC). Yassin Nasser y'akulembedde NRC n’obubonero 355 wabula ng’alina okuvuganyizibwa okw’amaanyi okuva eri Ronald Ssebuguzi (300) ne Arthur Blick (285).

Samuel Watendwa akulembedde 2WD n’obubonero 50 ng’addiridwa Fred Ssenkumba (47) ne Sadat Negomba (45) ng’asumagira yenna mu z’e Hoima, engule emusubye. Mu ngeri y’emu, n’abali mu CRC bali ku bunkenke kuba Ibrahim Lubega akulembedde alina 27 abamuddiridde Peter Businge ne Rajiv Ruparelia  balinao 20 buli omu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kavuma1jpgweb 220x290

Omukazi yanfera omukwano

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda...

Mwana2jpgweb 220x290

Abazadde basobeddwa olw'omwana...

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka olususu buli olukya naye nga tebamanyi kimuluma. Bagamba nti omwana...

Kadaga 220x290

Kadaga alabudde abakozesa obwana...

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana...

Ndagamuntuyomugenzi2 220x290

Afiiridde mu mulyango nga bamutwala...

Abatuuze basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako

Sat2 220x290

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba...

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup