TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Ssewanyana awadde poliisi bwiino ku Magogo

Ssewanyana awadde poliisi bwiino ku Magogo

By Musasi wa Bukedde

Added 11th October 2019

Oluvannyuma lwa FIFA okutaliga Moses Magogo okumala emyezi 2 nga te yeetaba mu mupiira n'okumutaanza obukadde 37 olw'okutunda tiketi ze yalina okugaba ensonga ze zeyongedde okulanda.

Allanciid1 703x422

Ssewanyana (ku kkono) ne munnamateeka we Allan Mulindwa ku kitebe kya CIID.

Bya JALIAT NAMUWAYA

OMUBAKA wa Makindye West, Allan Ssewanyana yeeyanjudde ku kitebe kya bambega ba poliisi e Kibuli n’abawa bwiino alumiriza engeri pulezidenti w’ekibiina ekifuga omupiira ekya FUFA, Moses Magogo gye yatundamu tiketi za World Cup.

Okugenda yasoose kuyitibwa poliisi ng’eyagala agiyambeko okubawa obujulizi ku musango gwe yawawaabira Magogo mu 2017 nga yeemulugunya ku ngeri gye yatundamu tiketi z’okulaba World Cup ya 2014, ezaalina okuweebwa Bannayuganda.

Yawerekeddwako munnamateeka we, Allan Mulindwa ng’ekibuli baatuuseewo ku ssaawa munaana ez’omu ttuntu era nga baamazeeyo essaawa namba.

"Okumpita wano kinnyambye nnyo okukakasa Bannayuganda nti amateeka ga Uganda nago galina okukola. Tetuyinza kukkiriza buli bwanguzi ,obulyake n'obubbi okukolebwa nga tulaba ,abazungu batulaga nti omusajja mubi ate ffe lwaki tumuleka," Seewanyana bwe yategeezezza.

Magogo mu kiseera kino ali ku kkoligo lya myezi ebiri nga teyeetaba mu nsonga za mupiira gwonna n’okuliwa obukadde bwa Uganda 37 olw’okwenyigira mu mivuyo gy’okutunda tiketi. Ekibonerezo kyamuweereddwa ekibiina ekifuga omupiira mu nsi yonna ekya FIFA.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Yagayo 220x290

Owoolubuto eyabula basanze yaziibwa...

OMUKAZI owoolubuto olw’emyezi omusanvu eyava awaka wiiki ssatu eziyise okugenda okunywa eddagala mu ddwaaliro lya...

Wangi 220x290

Eyeeyise owa ISO n’abba emmotoka...

OMUSAJJA abadde yeeyita owa ISO n’abba mmotoka ku muntu akwatiddwa.

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...

Fari1 220x290

Laba amaziga g’essanyu.

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye...

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona...

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.