TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Magogo azzeeyo ku butaka gy'azaalibwa ne bamwaniriza n'emizira

Magogo azzeeyo ku butaka gy'azaalibwa ne bamwaniriza n'emizira

By Musasi wa Bukedde

Added 14th October 2019

FIFA olwamaze okumukaliga emyezi ebiri nga teyeenyigira mu mupiira, Moses Magogo, abadde pulezindeti wa FUFA, yasibidde ku butaka mu disitilikiti y’e Buyende.

Buku1 703x422

Magogo (mu ssaati ya bulu) g’aliko byannyonnyola.

Abataka ba Budiope East olwamaze okumwaniriza, Olwomukaaga n’alumalako ng’ataalaga ebyalo okuggumiza omulamwa gwe ogw’okulondoola abaana abalina ebitone naddala mu mupiira.

Mu byalo bye yalambudde mwabaddemu; Gwaase, Ngandho, Kitukiro, Bumogoli ne Irundu, n’akubiriza abazadde obutagaana baana kwenygira mu mizannyo naddala gye balinamu ttalanta, kubanga gisobola okubagasa mu biseera eby’omu maaso.

“Omwana ky’atandika nakyo ky’akula nakyo. Mubaleke boolese ttalanta ezijja okuvaamu ebirungi mu maaso, nammwe abazadde mufunemu,” Magogo bwe yagambye, n’akubiriza n’abavubuka okwenyigira mu mirimu egivaamu ensimbi mu kifo ky’okwenyigira mu ludo n’amatatu.

Ekibonerezo kya Ying. Magogo kyatandise nga October 10, nga kitwaliramu n’okuwa engassi ya doola 10,000 (37,000,000/-) z’alina okusasula mu nnaku 30.

Omubaka Allan Ssewanyana (Makindye West), ye yatwala Magogo mu FIFA, ng’amulanga kutunda tikiti za World Cup mu ngeri y’amagendo, sso nga yalina kuziguza Bannayuganda ku nsimbi ensaamusaamu, basobole okunyumirwa empaka zino ezaali mu Brazil mu 2014.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssekamanya00webuse 220x290

Obutabanguko mu maka bwongedde...

Omusumba eyawummula, Mathias Ssekamaanya asabye abafumbo okufunaolunaku bakubaganye ebirowoozo ku ntambula y'amaka...

Kib2 220x290

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi...

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi zikuwa obukadde 4 bw'ozikamulamu butto ? Soma emboozi y'omukenkufu

Mesachssemakulanemukyalawe 220x290

Mesach njagala mbaga

Sarah Nakkaayi mukyala w'omuyimbi Mesach Ssemakula (Golden Papa) ateze bba akamasu. Amusuddeko akabaga k'amazaalibwa...

Dit2 220x290

Noah Kiyimba asabye abakulembeze...

Noah Kiyimba asabye abakulembeze b'e Butambala okkolera awamu

Ta 220x290

Bannansi beesiga bakulembeze ba...

POLOF. Julius Kizza okuva mu yunivasite e Makerere agambye nti bannansi okumanyisibwa ebifa mu gavumenti tekubeera...