TOP

Mutumbule emizannyo - Ssekandi

By Muwanga Kakooza

Added 14th October 2019

Abavubuka nga 1,000 okuva mu maggombolola ag'enjawulo e Masaka beetabye mu mizannyo egyakomekerezeddwa ku ssomero lya St. Pius Primary School e Buliro.

Vp1 703x422

Ssekandi ng'akwasa abawanguzi ekikopo.

OMUMYUKA wa Pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi akubiriza abakwatibwako okwongera amaanyi mu kutumbula omuzannyo gw’okusamba omupiira gw’abawala  ogw’ebigere ng’agamba nti gwongedde okukwata akati ennaku zino ng’ogw’abasajja.

Ssekandi yawadde eky’okulabirako nti ky’ekiseera okutandikawo ‘akademe’ ezitendeka abawala abato okusamba omupiira kyongere  mu kunoonya ebitone mu ggwanga.

Bino yabyogeredde mu kuggulawo empaka z’emizannyo gy’abavubuka mu Bukoto Central e Masaka egya ‘Edward Kiwanuka Youth Sports Tournament’.

Abavubuka nga 1,000 okuva mu maggombolola  Kyesiiga, Kabonera ne Kyananamukaaka e Masaka  beetabye mu mizannyo egyakomekerezeddwa ku ssomero lya St. Pius Primary School e Buliro mu ggombolola y’e Kyesiiga.

Empaka zino zaabaddemu abavubuka abalenzi n’awala okusamba omupiira, okubaka,okuvuga obugaali n’emirala. Era abawanguzi mu mupiira baafunye ekirabo kya 500,000/- emijjoozi, emipiira esatu  n’emidaali.Abawangudde okubaka  bafunye 400,000/-, ate eyawangudde empaka z’obuggaali n’afuna 300,000/-

SSekandi yagambye  nti omupiira gw’ebigere gwe gumu ku mizannyo egisinga okulabwa abantu mu Uganda era abawala abagusamba tebasaanye kulekebwa mabega.

Yebazizza akulira kkampuni ya ‘ Xabo Group of Companies, Dr. David Alobo,  olw’obuyambi bwe yawaddeyo mu kutegeka empaka ezo ezakung’anyzizza abavubuka okuva mu bitundu  by’e Bukoto.

Ssekandi yagambye nti ebyemizannyo bikola kinene mu kukuuma abantu nga balamu bulungi mu mibiri kuba bibagobako endwadde . N’agamba nti ng’ogyeko ekyo ebyemizannyo era bireeta ensimbi nga kati bisinga n’emirimu gy’abasiba amataayi  kwe kutemya ku bantu okutandikawo ‘akademe’ z’okutendeka abawala okusamba omupiira kuba n’ogwabwe gutandise okujjumbirwa.          

Dr. David Alobo  yagambye nti musanyufu olw’abavubuka okwenyigira mu mizannyo gino nga bayitira mu kibiina kya ‘Bukoto Central Youth Link’ era n’asiima Ssekandi  olw’okuyamba b’e Bukoto okutumbula ebyenfuna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Condoms 220x290

Kkondomu ezirimu ebituli zisattizza...

Bannayuganda abettanira kkondomu za Life Guard baweereddwa amagezi okwekenneenya kkondomu ze bagula nga tebannazikozesa....

Thumbnailunaiemerypoints 220x290

Martin Keown anyiizizza aba Arsenal...

Martin Keown, omu ku bazibizi abaayitimukira ennyo mu Arsenal era nga yali mu ttiimu eyawangula Premier nga tekubiddwaamu...

Gareth Bale ali ku yoleke

Gareth Bale ali mu kattu olw’abawagizi ba Real Madrid abaanyiize olw’okulaga nti ttiimu eno y’ekoobera mu bintu...

Mauriciopochettino2019 220x290

Barcelona eyagala Pochetinno asikire...

Barcelona, bakyampiyoni ba Spain bandikola eky’omuzizo ne bakansa omutendesi eyatendekako Espanyol FC, bwe batalima...

Bwakikola 220x290

Biibino ebitundu ebirala ebyefudde...

NE WANKUBADDE ng’abantu abasinga Bermuda Triangle bamumanyi ng’ekifo ekibuzaawo abasaabaze ababeera mu nnyonyi...