TOP

Ssekandi asabye ku mupiira gw'abawala

By Muwanga Kakooza

Added 14th October 2019

Omumyuka wa pulezidenti, Edward Ssekandi, asabye bekikwatako okwongera okutumbula omupiira gw'abawala mu ggwanga

Vpweb 703x422

Ssekandi ng’akwasa emu ku ttiimu ezakoze obulungi ekikopo.

OMUMYUKA wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Ssekandi, asabye abakwatibwako okwongera amaanyi mu kutumbula omupiira gw’abawala  kuba gweyongedde okukwata akati.

Ssekandi yagambye nti kye kiseera okutandikawo akademi ezitendeka abawala abato okusamba omupiira kyongere mu kunoonya ebitone mu ggwanga.

Yabadde aggalawo empaka z’emizannyo gy’abavubuka mu Bukoto Central e Masaka, egyatuumiddwa ‘Edward Kiwanuka Youth Sports Tournament, nga zeetabiddwamu amaggombolola okuli; Kyesiiga, Kabonera ne Kyananamukaaka.

Emizannyo egyavuganyiddwaamu kuliko; omupiira, okubaka, okuvuga obugaali n’emirala. Abawanguzi mu mupiira baaweereddwa 500,000/- emijoozi, emipiira esatu  n’emidaali, abookubaka 400,000/-, ate eyawangudde mu z’obugaali n’afuna 300,000/-

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam