TOP

She Cranes eyolekedde South Afrika

By Gerald Kikulwe

Added 14th October 2019

She Cranes ayolekedde South Afrika n'ekigendererwa ky'okuwangula empaka za Afrika omulundi ogwokusatu ogw'omuddiring'anwa

Sheweb 703x422

Abazannyi n'abakungu She Cranes nga tebannasitula

2019 African Netball Championship

E South Afrika

TTIIMU y’eggwanga ey’okubaka, She Cranes, esitudde okwolekera e South Afrika okwetaba mu mpaka za ‘African Netball Championship’ ezitandika ku Lwokutaano.

Cranes yasiibuddwa Zubair Galiwango, mmemba w’akiiko akavunaanyizibwa ku mizannyo mu ggwanga aka NCS, eyabakuutidde okwolesa omutindo omulungi basobole okukuumira bendera ya Uganda waggulu, nga bawangula ekikopo kino.

Uganda ye nnantameggwa w’empaka zino emyaka ebiri egy’omuddiring’anwa (2017 ne 2018). Eri mu kibinja B ne Zimbabwe, Kenya ssaako Tanzania.

Amawanga amalala ageetabye mu mpaka ye; Malawi, Zambia, Lesotho n’abategesi aba South Afrika

Ensengeka za Uganda

Lwakutaano (October 18)

Uganda – Zimbabwe (2:00 ku makya)

Lwamukaaga (October 19)

Tanzania – Uganda(4:00 ku makya)

Sunday (October 20)

Kenya – Uganda (8:00 ez’emisana)

Uganda  eri mu kibinja B ne Zimbabwe, Kenya,Tanzania

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...