TOP

USPA basiimye Halima Nakaayi

By Silvano Kibuuka

Added 14th October 2019

Bannamawulire abasaka ag'emizannyo balonze Halima Nakaayi ku buzannyi bwa September

Nakaayiweb 703x422

Halima Nakaayi ng'ajaganya

 

Bannamawulire abawandiika ag’emizannyo mu kibiina kya Uganda Sports Press Association (USPA),  bassizza kimu ne balonda omuddusi Halima Nakaayi ku buzannyi bwa September. Nakaayi yasiimiddwa okuwangulira Uganda omudaali gwa zaabu mu misinde gy’ensi yonna egya World Championships mu mmita 800. Emisinde gyabadde mu kibuga Doha, e Qatar.

Bino bibadde mu lutuula lwa Nile Special –USPA olwa buli mwezi ku wooteeri ya Imperial Royale.

Nakaayi yavugannyizza n’abazannyi abalala abaakoze obulungi okuli; omuwuzi Kirabo Namutebi eyawangudde zaabu mu mpaka za Africa Junior Championships mu Algeria, ttiimu y’eggwanga ey’abawala ey’omupiira eyawangudde COSAFA U-17, n’abalala.

Abalala kuliko;omuzannyi wa golf, Peace Kabaswala eyawangudde empaka za Tanzania Ladies Open, Martha Babirye eyawangudde golf wa Uganda Ladies Open,  wamu n’omuggunzi w’eng'uumi Abdu Sebute eyawangudde omusipi gwa East and Central Africa ogwa  mu buzito bwa Super Fly.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...