TOP

Abasawo balaze ttalanta mu rugby

By Ssennabulya Baagalayina

Added 15th October 2019

Abayizi abasoma obusawo balaze ttalanta mu muzannyo gwa rugby bwe basitukidde mu mpaka z'e Masaka

Rugbyweb 703x422

Abayizi nga battunka

ABAYIZI abasoma obusawo balidde empanga mu mpaka za rugby ezaakomekkerezeddwa ku Masaka Rugby Grounds mu Nyendo. Abasawo bano basomera Mulago, wansi wa yunivasite y'e Makerere.

Empaka zino, eza HK Rugby Cup, zaategekeddwa Herman Kasozi, nnannyini kisaawe kino, n’ekigendererwa ky’okutumbula omuzannyo gwa rugby n’okugwagazisa Bannamasaka, n’ebitundu ebiriraanyewo.

Okuvuganya kwabadde wakati wa Nkozi Jogos eya yunivasite e Nkozi, Buddu Lions, Masaka City ne Rams Rufc ey'abasoma obusawo e Mulago, abaaziwangudde  bwe baakubye Buddu ku obugoba  48 ku 12.

Ddiifiri Ronald Wutimber ng'ayambibwako Gonzaga Mayanja ne Umar Balikanda okuva mu Kampala Rugby Referee Association, be baabadde mu mitambo gy’empaka zino, era be baalonze Aziz Kaliimu ku buzannyi bw'olunaku.

   

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...