TOP

Abembogo beekulisizza okuwangula Engabo

By Musasi wa Bukedde

Added 15th October 2019

Omutaka Kayiira Gajuule asabye bannabyamizannyo okukuuma omutindo n'empisa basobole okugenda mu maaso

Kayiiraweb 703x422

Omutaka Kayiira Gajuule ne bazzukulu b'Embogo

Bya LYDIA NAKIGULI

OMUTAKA Kayiira Gajuule, akulira Ekika ky’Embogo, akubirizza abazannyi be okukuuma omutindo n'empisa basobole okweddiza Engabo y'empaka z’Abaganda omwaka ogujja.

Yagambye nti Ekika ky’Embogo tekikoma kubeera na ttalanta mu mupiira mwokka wabula ne mu mizannyo emirala, n’awa eky’okulabirako kya Halima Nakaayi eyawangulidde Uganda zaabu mu mpaka z'ensi yonna ne Fortune Sentamu eyawangula eza ddigi mu bato.

“Omuzannyi yenna okusigala ng’ovuganya olina okukuuma omutindo n'empisa," Kayiira bwe yakuutidde abazannyi, ku kabaga bazukkulu b’Embogo ke baategse okuyozaayoza ttiimu y'omupiira okusitukira Ngabo y’Ebika. Baabadde ku Explorer Ranch e Bweranyange mu Wakiso.

Embogo yawangula Ekkobe ggoolo 1-0 ku fayinolo eyali  Masaka Recreation Grounds nga August 31, era nga bakulembeddwamu omutendesi Ibrahim Kiirya, abazannyi Engabo baajanjulidde Omutaka Kayiira ku kabaga kano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab12 220x290

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e...

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e Mityna kuzzeemu kigoye wezinge

Gwe1 220x290

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo...

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo omwana we ew'omusamize bamusadaake

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe

Omwala2webuse 220x290

Ab'e Kansanga beeraliikirivu olw'omwala...

Abatuuze e Kansanga mu Makindye beeraliikirivu olw'omwala ogwasalamu ekkubo gwe bagamba nti gwandigwaamu abaana...

Babaka1 220x290

Sipiika tuyambe naffe baagala kututta...

ABABAKA ba Palamenti musanvu baddukidde ewa Sipiika nga balaajana nti waliwo ababalondoola abaagala okubatta nga...