TOP

Giroud atiisizza okuva mu Chelsea

By Ester Naluswata

Added 15th October 2019

Giroud agamba nti ye tazannyira ttiimu etemuwa mipiira giwera era waakuva mu Chelsea nga bwe yakikola Arsenal.

Giroud1 703x422

Giroud

OLIVIER Giroud atiisizza okuva mu Arsenal nga bwe yakikola Arsenal.

Sizoni eno, Giroud yaakatandikayo emipiira 5 wansi w’omutendesi Frank Lampard era emikisa gye (Giroud) okudda mu ttiimu etandika mitono ddala oluvannyuma lwa Tammy Abraham okulyawo ennamba ye. Giroud, eyawangula ku World Cup agamba nti kino tajja kukkiriza waakiri ajja kubaddukako.

“Ng’enda kulwanira ennamba etandika mu Chelsea kyokka bwe naalaba nga tebandabawo, nja kugenda kuba ne Arsenal yayagala enkole kye kimu wabula n’engiddukako,” Giroud bwe yategeezezza.

Wabula bulijjo kigambibwa nti agenda mu Vancouver Whitecaps eya Amerika. Kyokka ne Inter Milan kigambibwa nti eyinza okumugula. Giroud agamba nti ku myaka 33, akyalina embavu okuzannya n’afuna ennamba etandika era waakukirowoozaako okuva mu Chelsea singa b'anaaba tebamulabawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Condoms 220x290

Kkondomu ezirimu ebituli zisattizza...

Bannayuganda abettanira kkondomu za Life Guard baweereddwa amagezi okwekenneenya kkondomu ze bagula nga tebannazikozesa....

Thumbnailunaiemerypoints 220x290

Martin Keown anyiizizza aba Arsenal...

Martin Keown, omu ku bazibizi abaayitimukira ennyo mu Arsenal era nga yali mu ttiimu eyawangula Premier nga tekubiddwaamu...

Gareth Bale ali ku yoleke

Gareth Bale ali mu kattu olw’abawagizi ba Real Madrid abaanyiize olw’okulaga nti ttiimu eno y’ekoobera mu bintu...

Mauriciopochettino2019 220x290

Barcelona eyagala Pochetinno asikire...

Barcelona, bakyampiyoni ba Spain bandikola eky’omuzizo ne bakansa omutendesi eyatendekako Espanyol FC, bwe batalima...

Bwakikola 220x290

Biibino ebitundu ebirala ebyefudde...

NE WANKUBADDE ng’abantu abasinga Bermuda Triangle bamumanyi ng’ekifo ekibuzaawo abasaabaze ababeera mu nnyonyi...