TOP

Nakaayi awangudde eky'omuzannyi wa September

By Muwanga Kakooza

Added 16th October 2019

EKIBIINA ekigatta bannamawulire abawaandiika ag’ebyemizannyo ekya Uganda Sports Press Association (USPA) kironze omuddusi wa Uganda, Halima Nakaayi, okuba munnabyamizannyo asinze banne mu mwezi gwa September 2019.

Nakaayi 703x422

Nakaayi

Bya Musasi waffe 

EKIBIINA  ekigatta bannamawulire abawaandiika ag’ebyemizannyo ekya Uganda Sports Press Association (USPA) kironze omuddusi wa Uganda, Halima Nakaayi, okuba munnabyamizannyo asinze banne mu mwezi gwa September 2019.

Nakaayi yawangulidde Uganda omudaali gwa zaabu mu misinde gy’abakazi egya mmita 800 mu misinde gy’ensi yonna egyayindidde e Doha mu Qatar.

 

Bannamawulire abaatudde mu Imperial Royal Hotel mu Kampala be balonze Nakaayi.

Abalala abaavuganyizza ku kifo kino kwabaddeko Kirabo Namutebi eyawangula emidaali gya zaabu ebiri mu misinde gy’Afrika egy’abato e Tunisa, ttiimu ya Uganda ey’omupiira gw’ebigere ey’abawala abali wansi w’emyaka 17 eyangudde ekikopo mu mpaka za COSAFA e Mauritius ne Peace Abasweka omuzannyi wa Golf omukazi eyawangudde empaka ezabadde e Tanzania.

 

Pulezidenti wa USPA, Patrick Kanyomozi yasiimye Nakaayi olw’obuwanguzi n’agamba nti ajja kufuba okulaba ng’amuyamba okuwangula emidaali emirala.

Bannamawulire baakubanyizza ebirowoozo ku ngeri y’okuzzaawo SACCO yaabwe  nga bayingiza bammemba abalala. Era eyali Pulezidenti waabwe Sabiiti Muwanga n’abakutuukira okweyisa mu ngeri eweesa ekibiina n’omulimu guno ekitiibwa.

 

Nakaayi awangulidde Uganda zaabu e Doha

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...

Fari1 220x290

Laba amaziga g’essanyu.

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye...

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona...

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.

Buloba1 220x290

Blick afunzizza engule y'ezaakafubutuko...

Blick kati abuzaayo empaka za mirundi 2 (Kapeeka ne Boxing day)okulangirirwa nga kyampiyoni w'ezaakafubutuko....

Img3804webuse 220x290

Ekivvulu kya Toto kiri mu ggiya...

Ekivvulu ky'abaana ekya ToTo ekitegekebwa Vision Group kyengedde nga kati olwa December 8 lwe lulindirirwa lwokka...