TOP
  • Home
  • Ebikonde
  • Omusipi Kiwanuka gw'agenda okulwanira gutuuse

Omusipi Kiwanuka gw'agenda okulwanira gutuuse

By Musasi wa Bukedde

Added 16th October 2019

Kiwanuka yaweze nga bw’atagenda kugukirizza musipi gwa WBF Heavy weight kufuluma Uganda kuba waakukuba Omuzimbabwe amuleke mu kubiro.

Kiwanuka1 703x422

Simon Katongole omumyuuka wa pulezidenti w'ekibiina kya UPBC ekyabazannya ebikonde by'ensimbi ku kkono, adiriddwa Fatuh Alwi dayirekita w'ebyenjigiriza ku IUEA University, Kiwanuka wakti n'omugaga Sam Buchanan, Raga Dee ne Maureen Mulangira ssabawandiisi wa UPBC nga banjula omusipi Kiwanuka gwagenda okulwanira.

Bya FRED KISEKKA

OLULWANA wakati wa Munnayuganda Shafic Kiwanuka n’Omuzimbabwe Dube Thamsanq lweyongedde ebugumu abategesi bwe bayanjudde omusipi ababiri gwe bagenda okulwanira.

Omusipi guno gwatuuse mu gwanga ku ntandikwa ya wiiki eno (Mmande) era gwayanjuddwa eri bannamawulire akawungezi ka leero.

Oluvannyuma lw’okugwanjula, Kiwanuka yaweze nga bw’atagenda kugukirizza musipi guno kufuluma Uganda kuba waakukuba Omuzimbabwe amuleke mu kubiro.

 bayimbi ba 2 nga bawaga bwe bagenda okukuba abawagizi ba iwanuka emiziki ku lu lwana lwe Abayimbi ba B2C nga bawaga bwe bagenda okukuba abawagizi ba Kiwanuka emiziki ku lu lwana lwe.

 

Kiwanuka ne Dube bagenda kwabiika nga November 29 ku International University of East Africa e Kansanga nga bakuttunkira omusipi gwa WBF Heavy weight mu lulwana olwa laawundi 12.

Ku lulwana luno abayimbi ab’enjawulo okuli; aba B2C, Raga Dee n’abalala bakusanysa abalabi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Col2 220x290

Bebe Cool awadde abavubuka b'e...

Bebe Cool awadde abavubuka b'e Gomba obukadde 53 ez'okweggya mu bwavu

Set1 220x290

Rema yagambye nti buli mukazi yenna...

Rema yagambye nti buli mukazi yenna yetaaga kubeera n'omusajja gw'ayita omwami we ebyaddala

Ssematimba1 220x290

Peter Ssematimba atudde ebigezo...

Omubaka wa Busiro South Paasita Peter Sematimba atandise okukola ebigezo bye ebya S6 ku ssomero lya Minister JC...

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza