TOP

Magogo bw'aba yalya enguzi tadda mu ntebe - Muwema

By Hussein Bukenya

Added 17th October 2019

MUNNAMATEEKA Fred Muwema agambye nti emyezi ebiri FIFA gye yasibye Moses Magogo ng'akkirizza omusango gw'okutunda ttikiti za World Cup mu magendo mitono nnyo.

Magogo1 703x422

Ying. Moses Magogo (ku kkono) ne pulezidenti wa FIFA, Gianni Infantino nga basisinkanye gye buvuddeko.

Bya HUSSEIN BUKENYA
 
MUNNAMATEEKA Fred Muwema agambye nti emyezi ebiri FIFA gye yasibye Moses Magogo ng'akkirizza omusango gw'okutunda ttikiti za World Cup mu magendo mitono nnyo.
 
Magogo, akulira FUFA, yagaaniddwa okwenyigira mu nsonga z'omupiira okumala emyezi ebiri era n'atanzibwa doola 10,000 (eza Uganda obukadde 37) olw'okukkiriza bwe yatunda ttikiti za World Cup ya 2014 mu mankwetu. Omubaka Allan Sewanyana, (Makindye West) ye yaloopa Magogo.
 
Muwema, eyaliko pulezidenti wa Villa ate nga y’omu ku baali mu kabiina ka SOS akaagoba omugenzi Denis Obua ku bwapulezidenti wa FUFA, yannyonnyodde nti FIFA yakutte bubi ensonga za Magogo ng'ekitono ennyo waakiri yandisibiddwa emyaka ebiri.
 
 uwema Muwema

 

Mu kiwandiiko kye yafulumizza eggulo, Muwema yagambye nti FIFA esaanidde okuggulawo ffayiro y'omusango gwa Magogo, eyite n'abawaabi bawe obujulizi mu kyama nga bwe kiri mu kitundu nnamba 42 (2) mu mateeka gaayo.
 
"Omusango bwe guddamu, Magogo aba avunaanibwa obulyake n'aweebuula ofiisi ya pulezidenti wa FUFA," Muwema bwe yakkaatirizza.
 
FIFA YE BULI KIMU
Muwema era yagambye nti kikyamu FIFA okuba nga ye yalooperwa, y'enoonyerezza, y'evuunaana ate nga ye mulamuzi.
 
Yanokoddeyo etteeka lya FIFA eddala nnamba 27 (1), erigamba nti, "Okuwa, okufuna, okusaba ssente oba ekintu ekirala kyonna okuva ku muntu ow'ebweru oba munda mu FIFA, mu ngeri ey'amankwetu tekikkirizibwa."
 
"Oba nga Magogo yennyini yakkirizza nti yeenyigira mu buli bw'enguzi ng’atunda ttikiti za World Cup, kikyamu akakiiko ka FIFA akaabuuliriza ku nsonga ze okusalawo ekibonerezo. Ekisingako, ye FIFA okuttukiza omusango, egwetegereze bulungi ng’ewadde n’abawaabi omukisa okuwulirizibwa," bwe yategeezezza.
 
KKOOTI ZISOBOLA OKUMUVUBAANA
Muwema alabula nti ssinga FIFA eremwa okuddamu okutunula mu musango gwa Magogo, nayo yennyini esobola okuvunaanibwa omusango gw'okwekkiriranya nomuli w'enguzi sso nga ne kkooti za Uganda zirina obuyinza okuwulira emisango egizziddwa munnansi oba omugwira mu Uganda oba ebweru waayo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...