TOP
  • Home
  • Rally
  • Blick ayagala kuwangula mpaka z'e Hoim

Blick ayagala kuwangula mpaka z'e Hoim

By Gerald Kikulwe

Added 18th October 2019

Blick agamba nti ssinga awangula empaka z'e Hoima, kyakutangaaza emikisa gye egy'okusitukira mu ngule y'eggwanga eya mmotoka z'empaka.

Blick002 703x422

Arthur Blick Junior (ku ddyo) n’amusomera maapu, Ssemakula

ARTHUR Blick Jnr, yawangula empaka za mmotoka z'empaka ezaali e Fort Portal era n’akendeeza ku njawulo y’obubonero akulembedde ku ngule y’omwaka guno (NRC) bw'amusinga. Akomyewo awaga kusitukira mu za 2019 Total Kabalega Rally e Hoima.

Ez’e Fort Portal, olugendo lwa kiromita 214 yaluvugira 1:12:53 n'amegga banne 39 era n’asenvula okuva mu kifo ekyokutaano okudda mu kyokusatu.

Enkya ku Lwamukaaga nga October 19, empaka za Total Kabalega Rally lwe zitandika zikomekkerezebwa ku Ssande nga October 20 era zaakutolontoka olugendo lwa kiromita 173.83 .

“Kye ngoba kati nkirabako, saagala kuddiriza muliro, ssinga mpangula zino kiba kinkolera n’okutangaaza emikisa gy’okusitukira mu ngule y’eggwanga ey'omwaka guno," Blick bwe yaweze.

Zino z’empaka eziddirira ezisembayo ku kalenda ya mmotoka z'empaka ey’omwaka, Yasin Nasser y’akulembedde abalwanira engule ya NRC n’obubonero 355, Ronald Ssebuguzi (300), Arthur Blick (285), Hassan Alwi (260), Christakis Fitidis (258) n’abalala.

 

Bya Gerald Kikulwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Col2 220x290

Bebe Cool awadde abavubuka b'e...

Bebe Cool awadde abavubuka b'e Gomba obukadde 53 ez'okweggya mu bwavu

Set1 220x290

Rema yagambye nti buli mukazi yenna...

Rema yagambye nti buli mukazi yenna yetaaga kubeera n'omusajja gw'ayita omwami we ebyaddala

Ssematimba1 220x290

Peter Ssematimba atudde ebigezo...

Omubaka wa Busiro South Paasita Peter Sematimba atandise okukola ebigezo bye ebya S6 ku ssomero lya Minister JC...

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza