TOP

Abazannyi b'ebikonde beerinde akambe

By Musasi wa Bukedde

Added 20th October 2019

Abazannyi b'ebikonde mu ggwanga abatali batayirire bubakeeredde, UBF bw'eyisizza ekiteeso ekitayirira buli omu

Ubfweb 703x422

Muhangi (ku ddyo) ne Dr. Karusa

Bya FRED KISEKKA

EKIBIINA ekiddukannya ebikonde mu ggwanga, Uganda Boxing Federation (UBF), kiyisizza ekiteeso okutayirira buli mugunzi wa ng’uumi, kyongera okukendeeza ku bulwadde bwa siriimu.

Kiddiridde ekibiina kya UNAIDS ekirwanyisa obulwadde bwa siriimu mu ggwanga, okufulumya lipooti ng’eraga nti  ku bakubi b’ebikonde 1500 be kyakebeera wakati wa January ne July, 11  baasangibwa n’akawuka ka siriimu.

Lipooti eno yayanjuddwa Dr Karusa Kiragu, akulira UNAIDS mu ggwanga, ku mukolo gw’okutongoza kampeyini ya ‘Box HIV out of Uganda’, sizoni eyookubiri.

Moses Muhangi, pulezidenti wa UBF, yategezezza nti abazannyi abaasangiddwa n’akawuka ka siriimu si baakuddamu kukkirizibwa kuzanya bikonde, ng’amateeka ga AIBA, ekibiina ekitwala omuzanyo guno mu nsi yonna, bwe galagira.

“Tuyisizza n’ekiteeso nti teri muzannyi wa bikonde gwe tugenda kukkiriza kuzannya mu mpaka eziri ku kalenda ya UBF nga si mutayirire” Muhangi bwe yagambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Col2 220x290

Bebe Cool awadde abavubuka b'e...

Bebe Cool awadde abavubuka b'e Gomba obukadde 53 ez'okweggya mu bwavu

Set1 220x290

Rema yagambye nti buli mukazi yenna...

Rema yagambye nti buli mukazi yenna yetaaga kubeera n'omusajja gw'ayita omwami we ebyaddala

Ssematimba1 220x290

Peter Ssematimba atudde ebigezo...

Omubaka wa Busiro South Paasita Peter Sematimba atandise okukola ebigezo bye ebya S6 ku ssomero lya Minister JC...

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza