TOP
  • Home
  • Rally
  • Yasin Nasser tatidde ku bw'engule ya NRC

Yasin Nasser tatidde ku bw'engule ya NRC

By Nicholas Kalyango

Added 21st October 2019

Nasser, yamalidde mu kyakuna mu mpaka za ‘Total Kabalega Hoima Rally’ ezaabadde mu bitundu by’e Hoima ku wiikendi. Arthur Blick ye yawangudde.

Rallyyasinnasser 703x422

Nasser ng'avuga Subaru GVB mw'avuganyizza.

NRC bw’eyimiridde

Yasin Nasser          415

Arthur Blick Jr         385

Ronald Ssebuguzi   300

“SITIDDE. Empaka z’e Hoima zaabadde nnungi okukomekereza olutalo lw’engule wabula tekyasobose. Nnakozeseza akakodyo k’okwegendereza nga ntidde okuva ku kubbo olw’obuseerezi wabula tekaankoledde,” Bye byabadde ebigambo bya Yasin Nasser.

Yayongeddeko nti, “Mu mpaka eziddako (Kapeeka Rally) ezigenda okugalawo kalenda, mugenda kulaba Nasser ow’enjawulo. Ekirundi engule tugisigaddeko babiri era kati ng’enda kuvuga nga mmanyi gwe nnina okutunuulira.”

Nasser, yamalidde mu kyakuna mu mpaka za ‘Total Kabalega Hoima Rally’ ezaabadde mu bitundu by’e Hoima ku wiikendi. Ekifo kino kyamuleese asinga Arthur Blick ali mu kyokubiri ku ngule y’eggwanga (NRC) obubonero 30 bwokka.

Okuwangula engule, Nasser yeetaaga kumalira mu kyakubiri ssinga Blick abeera awangudde ez’e Kapeeka wabula ssinga abeera tawangudde (Blick), Nasser yeetaaga kumalira waggulu we oba mu bifo ebitakka wansi wa musanvu ebisooka.

Empaka z’e Kapeeka zisuubirwa okubeerawo mu wiikendi esembayo mu mwezi ogujja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza

Nabagereka11 220x290

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula...

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula mu bifaananyi

Chile1 220x290

CHILE EGOBYE ABAZANNYI

EKIBIINA ekifuga omupiira mu Chile kigobye abazannyi 20 mu nkambi lwa kuwagira bannansi abeekalakaasa nga baagala...

Ssekamanya00webuse 220x290

Obutabanguko mu maka bwongedde...

Omusumba eyawummula, Mathias Ssekamaanya asabye abafumbo okufunaolunaku bakubaganye ebirowoozo ku ntambula y'amaka...