TOP

Vipers yeeweredde BUL

By Ismail Mulangwa

Added 21st October 2019

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.

Vipers 703x422

Abazannyi ba Vipers nga bajaganaya mu katono ye Golola abatendeka.

Maroons-KCCA,Luzira

Vipers-BUL, St Mary’s Stadium TV

ENKYA (Lwakubiri) liigi ya babinywera 'Uganda Premier League' lwe ddamu okutojjera mu bisaawe eby’enjawulo oluvannyuma lw'emipiira gy'amawanga okukomekkerezebwa ku wiikendi.

Bakyampiyoni ba sizoni ya 2017/18 aba Vipers bakomawo mu nsiike ne BUL FC abakulembedde liigi.

 bazannyi ba  nga bajaganya Abazannyi ba BUL nga bajaganya.

 

Sizoni eno BUL eyolesezza omutindo ogw’enjawulo ng'eri wansi w’omutendesi Peter Onen nga baakakubwamu omupiira gumu gwokka (Busoga United e Jinja).

Wabula omutendesi Edward Golola owa Vipers mugumu nti ttiimu ye eri mu mbeera nnungi oluvannyuma lw’okumegga Express (3-0) e Kitende.

 rian ajwega ku ddyo ngattunka ne enis kot ku kkono Brian Majwega (ku ddyo) ng'attunka ne Denis Okot (ku kkono).

 

“BUL ttiimu nnungi era tugiwa ekitiibwa wabula tetugenda kugiwa mukisa gwonna kufuna buwanguzi kuba omupiira guno gwe gutuzza ku ntikko ya liigi.” Golola bwe yategezezza.

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...

Fari1 220x290

Laba amaziga g’essanyu.

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye...

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona...

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.

Buloba1 220x290

Blick afunzizza engule y'ezaakafubutuko...

Blick kati abuzaayo empaka za mirundi 2 (Kapeeka ne Boxing day)okulangirirwa nga kyampiyoni w'ezaakafubutuko....

Img3804webuse 220x290

Ekivvulu kya Toto kiri mu ggiya...

Ekivvulu ky'abaana ekya ToTo ekitegekebwa Vision Group kyengedde nga kati olwa December 8 lwe lulindirirwa lwokka...