TOP
  • Home
  • Rally
  • Owa FMU asiimye Robert Kabushenga owa Vision Group

Owa FMU asiimye Robert Kabushenga owa Vision Group

By Ismail Mulangwa

Added 22nd October 2019

Pulezidenti w'ekibiina ekifuga omuzannyo gwa mmotoka mu ggwanga asiimye atwala Vision Group olw'okuvujjirira empaka za ddigi

Armedweb 703x422

Dusman Okee (ku kkono) ne Barrack Orland (ku ddyo), nga bakwasa Gen. David Muhoozi, ensimbi ezaavudde mu mpaka za ddigi

PULEZIDENTI wékibiina ekiddukanya omuzannyo gwa mmotoka ne ddigi mu ggwanga, ekya FMU, Dusman Okee, asiimye omulimu gwa Robert Kabushenga akulira kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde, olw’okuvujjirira empaka za ddigi ezaali ezókusiimirako bannamagye.

Empaka zino, ezaatuumibwa ‘Armed Forces Appreciation Motocross Championship’, zaabadde Busiika nga October 6, nga zaagendereddwa okusiima bannamagye olw’obukuumi bwe bawa eggwanga.

Okee yabadde mu nkambi y’amagye e Mbuya ku Lwokubiri, gye yakwasirizza aduumira eggye lya UPDF,  David Muhoozi, obukadde 100 ezaasolozebwa.

“ Tusiima Kabushenga olw’okutukwasizaako ne tumaliriaz bulungi empaka zino,” Okee bwe yagambye.

obert abushengaRobert Kabushenga

 

Empaka zino, zeetabibwamu abavuzi abénjawulo okuva mu Uganda, Amerika, Israel, South Afrika, DR Congo, Girimaani, Bufalansa ne Kenya. Abavuzi ba bbooda be baasookawo.

Omukolo guno gwetabiddwako abakungu okuva mu kibiina kya FMU okwabadde, Barrack Orland, Evas Orland nábakungu okuva mu magye.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Col2 220x290

Bebe Cool awadde abavubuka b'e...

Bebe Cool awadde abavubuka b'e Gomba obukadde 53 ez'okweggya mu bwavu

Set1 220x290

Rema yagambye nti buli mukazi yenna...

Rema yagambye nti buli mukazi yenna yetaaga kubeera n'omusajja gw'ayita omwami we ebyaddala

Ssematimba1 220x290

Peter Ssematimba atudde ebigezo...

Omubaka wa Busiro South Paasita Peter Sematimba atandise okukola ebigezo bye ebya S6 ku ssomero lya Minister JC...

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza