TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Omutendesi wa Cranes amaliridde okukola ebyafaayo

Omutendesi wa Cranes amaliridde okukola ebyafaayo

By Stephen Mayamba

Added 22nd October 2019

Omutendesi wa Cranes omuggya asabye FUFA okumuwa ebyetaagisa atuuse ttiimu mu nsi ensuubize

Ugandaweb 703x422

Allan Okello (ku kkono) ng'ayita ku muzannyi wa Burundi

OMUTENDESI wa Cranes,  Johnathan Mckinstry,  atenderezza omuntindo gw’abazannyi ba ttiimu ya CHAN,  n’asaba FUFA emukolerere entegekka ennungi, asobole okuggya ku Uganda ekikwa ky’obutava mu kibinja.

Ku Lwomukaaga, Uganda yayiseemu okuzannya ez’akamalirizo eza CHAN omwaka ogujja, era Mckinstry agambye nti ku bulungi bw’abazannyi ba Cranes asobola okugituusa ku fayinolo n’ewangula n’ekikopo.

Mckinstry eyalangirirwa ku butendeis bwa Cranes ku ntandikwa y’omwezi guno, yasalawo omumyukawe, Abdallah Mubiru asigale mu mitambo gya ttiimu  ya CHAN agimazeeko egy’okusunsulamu,  era ye omupiira guno, Cranes mwe tawuttulidde Burundi ggoolo 3-0, yagulabidde mu bawagizi. McKinstry oluvannyuma yagenze mu busenge bw’abazannyi okubayozaayoza.

 bdallah ubiru ku kkono ngalina byannyonnyola cinstry Abdallah Mubiru (ku kkono) ng'alina byannyonnyola McKinstry

 

“ Ku bazannyi abalungi bwe bati bwe ngattako enteekateeka ennungi, siraba nsonga etulemesa kutuuka ku fayinolo,” Mckinstry bwe yategeezezza.

Yayongeddeko nti amangu ddala agenda kutuula ne Mubiru bakole pulaani gye bagenda okugoberera.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga