TOP

Atendeka ey'okubaka mumativu

By Gerald Kikulwe

Added 22nd October 2019

She Cranes eri mu mpaka za Afrika e South Afrika era ebadde ekolerera waakiri emalire mu kifo ekyokusatu.

Jescaachan 703x422

Jesca Achan owa She Cranes

OMUTENDESI wa ttiimu y’eggwanga ey’okubaka eya She Cranes, Rashid Mubiru atenderezza abawala be yatutte mu mpaka z'okubaka eza ’African Netball Championship, olw’omutindo omulungi gwe boolesezza. Leero ku Lwokubiri, baakubye Kenya.

She Cranes yasitula ku Mmande ya wiiki ewedde okugenda mu Cape Town ekya South Africa empaka zino gye zibadde, ng'ekigendererwa kyali kya kweddiza kikopo kino omulundi ogwokusatu ogw’omuddiring’anwa wabula yamalidde mu kifo kyakusatu n’obubonero 8 mu nzannya mukaaga.

Mubiru agamba nti ttiimu gye yatutte ebadde y’abaana bato era bakoze bulungi okusinziira ku njawulo ya ggoolo gye baataddewo nga bazannya ensi nga South Afrika ne Malawi ezibadde ezisinga amaanyi.

“Mu World Cup e Bungereza, South Afrika yatukuba 67-40, Malawi yatukuba 55-44, omulundi guno tetubadde na bassiniya baffe naye batukubye n’enjawulo ntono ddala, nzikiriza eno ttiimu ekoze bulungi, era tugenda kwongera egizimba mujja kugiwulira,” Mubiru bwe yategeezezza.

 mutendesi ubiru ngawa abazannyi ebiragiro Omutendesi Mubiru ng'awa abazannyi ebiragiro

 

Enzannya za Uganda, yawangudde Zambia (67-33), Lesotho (98-24), Kenya (61-42) ate n’efuna n’obubonero 2 wamu n’eggoolo 60 oluvannyuma lwa Zimbabwe gye yali erina okuzannya nayo ku lunaku olusooka okutuuka ekikeerezi ng’obudde bw’okwezannya buyiseeko.

South Afrika ye yatutte ekikopo kino omulundi gwayo ogusoose bwe yakung’anyizza obubonero 12 mu nzannya 6 ate Malawi yakutte kyakubiri (10).

Bya Gerald Kikulwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...