TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Sseng'enge atabudde abawagizi b'omupiira

Sseng'enge atabudde abawagizi b'omupiira

By Silvano Kibuuka

Added 24th October 2019

Sseng'enge eyateereddwa ku kisaawe kya Maroons e Luzira, atabudde abawagizi

Maroonsweb 703x422

Abawagizi ku sseng'enge eyateereddwa ku kisaawe ky'e Luzira

 

Abawagizi b’omupiira baavudde e Luzira nga beekokkola abaddukanya ekisaawe ekyo olw’okusiba sseng’enge asala ng’akagirita ku lukomera we bayimirira, naddala ttiimu eng'enyi, kye bagambye nti kimenya mateeka.

Ekisaawe kino kyassiddwaako sseng’enge ow’enkata mu okukugira abawagizi obutasemberera katimba akabaawula ku kisaawe, wabula bangi baavuddeyo ng’abasaze n’okubasunira engoye.

“Muteeka mutya sseng'enge ono ku kisaawe naddala awayimirira abawagizi abagenyi? Tugenda kwekubira omulanga mu FUFA”, omuwagizi omu bwe yategeezezza wakati mu kukaayana n’abaserikale b'amakomera abaabaddewo.

 ogers yamukama Rogers Byamukama

 

Ssentebe w’akakiiko ka FUFA akalambula ebisaawe n’okugaba layisinsi, Rogers Byamukama, agambye nti we baalambulira ekisaawe ekyo sseng'enge teyaliiko, wabula bagenda kwongera okutunula mu nsonga eno.

 

 

  

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja

Muhabati 220x290

Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’...

NG’EBULA ennaku mbale Bukedde TV okutwala abawagizi baayo ku bizinga e Kalangala, abantu bakyagenda mu maaso n’okwetaba...

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....

Luke 220x290

Mmotoka y’abagole egudde mu mugga...

MMOTOKA ebaddemu abagole n’abooluganda lwabwe 7 egudde mu mugga abantu bataano okuli n’abagole ne bafiiramu