TOP
  • Home
  • Mupiira
  • FUFA ereese Ayub Khalifa ayambe ku Bulega okuleeta ekya CECAFA

FUFA ereese Ayub Khalifa ayambe ku Bulega okuleeta ekya CECAFA

By Stephen Mayamba

Added 28th October 2019

FUFA ereese omutendesi wa Kawempe Muslim, Ayub Khalifa Kiyingi ayambe ku Farida Bulega atendeka Crested Cranes okuleeta ekikopo kya CECAFA.

Crestedcranes2 703x422

Ttiimu ya Crested Cranes eyatandise omupiira gwa Ethiopia ku Lwomukaaga e Lugogo nekubwa ggoolo 1-0 okuwanduka mu z'okusunsulamu z'emizannyo gya Olympics ku mugatte gwa ggoolo 4-2. Abakutamye mu maaso okuva ku kkono; Tracy Jones Akiror, Fazila Ikwaput, Resty Nanziri, Fauzia Najjemba, ne Aisha Namukisa. Abayimiridde emabega okuva ku kkono; Ruth aturo, Hasifa Nassuuna, Grace Aluka, Yudaya Nakayenze, Shadia Nankya ne Vila Namuddu. (STEPHEN MAYAMBA)

Obumanyirivu bwa Khalifa atendeka ne Kawempe Muslim mu liigi y’eggwanga ey’omupiira gw’abakazi eya FUFA Women Super League mu  kisuubirwa nti bujja kuyamba Uganda okusittukira mu kikopo ekize nga kiyita Uganda mu ngalo nakyo bakireeta. 

Omwezi oguwedde Khalifa yaddumiidde ttiimu y’eggwanga eyabali wansi w’emyaka 17 okuwangula empaka za COSAFA U1 7 ezaabadde e Mauritius Uganda ze yeetabamu nga ttiimu engenyi wabula n'eziwangula

Empaka z’omupiira gw’abakazi mu mawanga g’obuvanjuba n’amasekkati ga Africa eza CECAFA Women Championships 2019 zisuubirwa okutandika nga November 14 e Dar es Salaam ekya Tanzania era okusinziira ku bibinja ebyafulumiziddwa Uganda yatereddwa kibinja B ne Djibouti, Kenya ne Ethiopia agamaze ebbanga nga galabya Uganda ennaku.

 

Omwaka oguwedde mu mpaka ezali e Rwanda,  Tanzania yasoona Uganda n’egitwalako ekikopo ku njawulo ya mugatte gwa ggoolo oluvanyuma lw’okwenkanya obubonero, musanvu.

Abategesi aba Tanzania abawangudde empaka zino enfunda ebbiri ezisembyeyo (mu 2016 ne 2018) bali mu kibinja ne Zanzibar,  South Sudan ne Burund.

Amawanga 8 ge gakakkasiza okwetaba mu mpaka z’omwaka guno. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Know 220x290

Baze yanjiira asidi lwa kumugaana...

OBUTABANGUKO mu maka kimu ku bizibu ebiyuuya obufumbo mu ggwanga. Abakazi be basinga okukosembwa embeera eno era...

Laga1 220x290

Bwe nnafuna olubuto lw'abalongo...

NZE Ritah Byeganje, 25, ndi mutuuze mu Katoogo zooni mu muluka gwa Bwaise III e Kawempe. Nasinsinkana ne muganzi...

Yamba 220x290

Baze bwe yayingirira eby'okusamize...

EBIKOLWA by’okusamira n’okukozesa ebyawongo kimu ku bivuddeko obufumbo bw’ensangi zino okutabanguka.

Abakungubanrmmuofiisiyacaojamesnkataabaakulembeddwardcfredbamwineasookakuddyowebuse 220x290

RDC w’e Mukono akulembeddemu kaweefube...

Abakulembeze e Mukono bavuddeyo ku byobugagga bya disitulikiti y'e Mukono ebigambibwa okutundibwa

Abazaddenabongabavuganyamumpakazokuddukanolondaakapapulaobweddaobulimuebiraboebyenjawulowebuse 220x290

Abazadde bawangulidde abaana baabwe...

Omukulu w'essomero akakoze bw'addizza abazadde ebirabo n'abaleka nga bamutenda omwoyo gw'okuddiza