TOP

Wakiso ewera kumegga Police mu liigi

By Ismail Mulangwa

Added 28th October 2019

Abazannyi n'abatendesi ba kiraabu za Uganda enkya baakusabuukulula obukodyo bwe bafunye mu luwummula nga batuunka mu mipiira gya liigi.

Police1 703x422

Abazannyi ba Police mukutendekebwa.

BUL-Bright Stars 10:30

Express-Busoga United 10:30

Police-Wakiso Giants 10:30

SC Villa-URA 10:30

ENKYA abawagizi ba liigi ya Uganda bakuddamu okulaba ku ttiimu zaabwe ez’enjawulo nga zabika ebifuba n’okulwanira obubonero mu liigi ya Uganda Premier League.

Police FC etendekebwa Abdallah Mubiru ekyaza batabani ba Kefa Kisaala aba Wakiso Giants e Lugogo mu mupiira ogwa vvawo mpitewo kuba guno gwe guzza Mubiru engulu.

Bukya sizoni eno etandika mu September w’omwaka guno, Mubiru yaakawangulayo omupiira gumu gwokka ogwa Kyetume FC e Namboole ng’amaze emipiira esatu (3) egy’omuddirig’ana nga tawangula okubadde (Busoga United 2-1, Vipers 3-1 ne Express 5-3).

Wabula Kefa Kisaala atendeka Wakiso Giants awera kusuuza Mubiru mupiira gwakuna kuba ekirubirirwa kye ky’akumalira mu bana basooka sizoni eno.

“Police ttiimu nnungi era tetugenda kugyigaya wabula okuwumula kwa liigi kutuyambye okwetegeka ekimala n’abazannyi ababadde abalwadde okudda mu kutendekebwa,” Kisaala bwe yagambye.

Wakiso Giants mupiira ogwasemba yamegga Proline (2-1) e Wankulukuku ate Police yakubwa Busoga United (2-1) e Jinja nga be bamu ku bakwebedde mu liigi.

Mu ngeri y’emu Sam Simbwa ali ku puleesa yakuwangula mupiira gwakusatu sizoni eno. Yasemba kumegga Onduparaka (2-1) mu Arua. Bakyalira SC Villa eri mu kyokusatu n’obubonero 16 mu mipiira 9.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga