TOP
  • Home
  • Akadirisa
  • Bale atandise okutema empenda z’okwabulira Real

Bale atandise okutema empenda z’okwabulira Real

By Ester Naluswata

Added 29th October 2019

Bale agamba nti luli baamulemesa okuva mu Real Madrid nga mu katale ka January ayagala agyabulire.

Balemumaaso3 703x422

Bale (mu maaso) ng'asamba akapiira

GARETH Bale abitaddemu engatto n’ayolekera London mu Bungereza ayogeremu ne kitunzi we okulaba nga mu katale ka Janaury, afuna ttiimu ave mu Real Madrid etemulabawo.

Okusinziira ku mawulire ga Marca ag’e Spain, Bale yategeezezza kitunzi we, Jonathan Barnett okumufunira kiraabu empya. Kigambibwa nti Shanghai Shenhua ey’e China ye yeesimbye mu Bale wadde nga ne mu katale akawedde, baayagala okumugula wabula Real n’emulemera.

Wadde Bale sizoni yagitandise bulungi, eky’okumuleka ebbali mu ttiimu ya Real eyazannya Club Brugge ku ntandikwa y’omwezi guno mu Champions League kye kisinze okumunyiga n’attukiza buto eky’okuva mu Real.

Nga kati abadde mu buvune, agamba nti mu January, yandivudde mu Real.

Mu ttiimu endala ezaali zaagala okumugula, kwe kuli ne ManU wabula nga bano bagamba nti omusaala gwe bategeka okumuwa, gwakusinziira ku ky’anaaba azannye kyokka ng’e China omusaala gwayo musava. Bale wa myaka 30.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...