TOP
  • Home
  • Rally
  • Ab'emmotoka beebugira za kafubutuko

Ab'emmotoka beebugira za kafubutuko

By Gerald Kikulwe

Added 30th October 2019

Ab'emmotoka beebugira mpaka z'akafubutuko nga balwanira obubonero obunaabayamba okusitukira mu ngule y'eggwanga

Rajivweb 703x422

Rajiv Ruparelia, omu ku bagenda okwetaba mu mpaka ng'avulumula mmotoka

 

ABAVUZI ba mmotoka z’empaka bazzeemu okwebugira ez’akafubutuko ez’omulundi ogw’omunaana ku kalenda ate nga yaakubiri ku ssatu ezeetengeredde omwaka guno.

Oluvannyuma lw’empaka mukaaga ezaakaggwa ku ngule y’eggwanga (NRC) nga zonna zibaddemu okuvuga ezaakafubutuko, kw’ogatta ezaali e Buloba ku Forest Park mu June, ku Ssande nga November 10, yingini zaakuddamu okutokotera ku Forest Park ng’emmotoka zifubutuka.

David Nsobya, akuliddemu amakubo yategeezezza nti  abavuzi bagenda kwetooloola emirundi ebiri, nga buli mwetoloolo guweza kiromita 3.47, omugatte ze kiromita 6.94. Nsobya  era yakubirizza abawagizi okufaayo ennyo eri obulamu bwabwe nga babeera wala n’amakubo, mmotoka mwe zinaayita okwewala obubenje.

 oseph bosa ku kkono ne avid sobya Joseph Bbosa ku kkono ne David Nsobya

 

“Olugendo terwawukanye nnyo kw’olwo abavuzi lwe baatolontoka mu mpaka eziwedde, wabula essira tulitadde nnyo ku kutangira obubenje era tuzingizza olukomera okwetooloola ekifo. Tusaba abawagizi baleme kumenya mateeka, ffenna okunyumirwa omuzannyo,” Nsobya bwe yakkaatirizza.

Arthur Blick Junior alina engule y’omwaka oguwedde, y’akyakulembedde n’obubonero 72, n’addirirwa Ronald Ssebuguzi (55), Jas Mangat (55), Hassan Alwi (46), Christakis Fitidis (44), Hassan Nasser (43), Omar  Mayanja (36), Rajiv Ruparellia (32), Ponsiano Lwakataaka (30), Abdul Kateete(30), n’abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Col2 220x290

Bebe Cool awadde abavubuka b'e...

Bebe Cool awadde abavubuka b'e Gomba obukadde 53 ez'okweggya mu bwavu

Set1 220x290

Rema yagambye nti buli mukazi yenna...

Rema yagambye nti buli mukazi yenna yetaaga kubeera n'omusajja gw'ayita omwami we ebyaddala

Ssematimba1 220x290

Peter Ssematimba atudde ebigezo...

Omubaka wa Busiro South Paasita Peter Sematimba atandise okukola ebigezo bye ebya S6 ku ssomero lya Minister JC...

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza