TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Owa Cranes ayise abazannyi 25 okwetegekera ez'Afrika

Owa Cranes ayise abazannyi 25 okwetegekera ez'Afrika

By Ismail Mulangwa

Added 30th October 2019

Abazannyi 5 bokka okuva mu liigi ya wano be baayitiddwa ku lukalala lw'abo 25 abagenda okubeera ne Cranes nga yeetegekera ez'okusunsulamu abagenda mu AFCON.

Cccranes 703x422

Ttiimu ya Cranes.

OMUTENDESI wa Cranes, Jonathan McKinstry alangiridde abazannyi 25 ab’agenda okulondako abannazannya Burkina Faso ku bugenyi nga November 13 ne Malawi e Namboole nga November 17 mu mpaka z’okusunsulamu abannazannya eza AFCON mu 2021 e Cameroon.

McKinstry, olukalala luno alusomedde ku kitebe kya FUFA e Mengo ku makya ga leero.

llan kello ku kkono yomu ku bazannyi 5 abazannyira wano abayitiddwa cinstry ku ddyoAllan Okello (ku kkono) y'omu ku bazannyi 5 abazannyira wano abayitiddwa McKinstry (ku ddyo).

 

Mu bazannyi abayitiddwa, 20 bazannya gwa pulo ate abalala 5 be bazannyira mu liigi ya wano (Uganda Premier League). Fahad Bayo, Allan Okello, Nicholas Kasozi, Charles Lukwago ne Halid Lwalirwa be bazannyira mu Uganda.

Abazannyi abayitiddwa kuliko;

Baggoolokipa:

Dennis Onyango (Mamelodi Sundowns, South Africa), Robert Odongkara (Horoya AC, Guinea) ne Charles Lukwago (KCCA, Uganda)

Abazibizi:

Ronald Mukiibi (Ostersunds FK, Sweden), Nico Wakiro Wadada (Azam, Tanzania), Bevis Mugabi (Motherwell, Scotland), Murushid Jjuuko (Wydad Casablanca, Morocco), Timothy Awany (Sport Club Ironi Ashdod, Israel), Hassan Wasswa (Jeddah, Saudi Arabia), Halid Lwaliwa (Vipers, Uganda), Isaac Muleme (Viktoria Zizkov, Czech Republic) ne Joseph Ochaya (TP Mazembe, DR Congo).

 bazannyi ba ipers nga bajaganya ano bayitiddwamu bannabwe basatu Abazannyi ba Vipers nga bajaganya. Bano bayitiddwamu bannabwe basatu.

 

Abawuwuttanyi:

Michael Azira (Chicago Fire, USA), Khalid Aucho (Misr Lel Makasa, Egypt), Tadeo Lwanga (Tanta, Egypt), Nicholas Kasozi (KCCA, Uganda), Allan Okello (KCCA, Uganda) ne Allan Kyambadde (El Gouna, Egypt)

Abateebi:

Emmanuel Okwi (Ittihad Alexandria, Egypt), Patrick Henry Kaddu (RS Berkane, Morocco), Alexis Bakka (Carlstad United BK, Sweden), Fahad Bayo (Vipers, Uganda), Farouk Miya (Konyaspor, Turkey), Abdu Lumala (Pyramids, Egypt) ne Kizito Luwagga (Shakhter Karagandy, Kazahstan).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kid2 220x290

Ekiri mu Toto Festival e Namboole...

Ekiri mu Toto Festival e Namboole

Man2 220x290

Norman Musinga ayogedde ku by'okwawukana...

Norman Musinga ayogedde ku by'okwawukana ne mukyala we-Oyo omukazi anneesibako

Nom8 220x290

Norman Musinga mukyala we amuwadde...

Norman Musinga mukyala we amuwadde obukwakkulizo obukambwe nga baawukana

Nom3 220x290

Akulira ebidduka mu Kampala atabuse...

Akulira ebidduka mu Kampala atabuse nemukazi we

Awar 220x290

Owa Bukedde awangudde engule

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards