TOP

Mubiru afunye obumyuka ku Cranes

By Nicholas Kalyango

Added 30th October 2019

Oluvannyuma lw'okuyisaamu Cranes okukiika mu mpaka za CHAN, Abudallah Mubiru alondeddwa okumyuka omutendesi wa Cranes omugya.

Mubiru 703x422

Mubiru (ku kkono) ne Livingston Mbabazi (ku ddyo) bagenda kuyambako McKinstry.

NGA Cranes enaateera okutandika okwetegekera emipiira g’okusunsulamu abaliza empaka za Afrika omwaka ogujja, Abudallah Mubiru alondeddwa ng’omumyuka w’omutendesi.

Jonathan McKinstry, ye yalangirirwa ng’omutendesi wa Cranes omujjuvu wabula leero ng’ali ku kitebe kya FUFA e mengo alangiridde abagenda okumuyamba ng’alwana okuzaayo Cranes mu mpaka za Afrika.

 ubiru ku kkono ngawayamu ne cinstry Mubiru (ku kkono) ng'awayamu ne McKinstry.

 

Abatendesi be yalangiridde kwe okuli Abdallah Mubiru (atendeka Police mu liigi ate nga yabadde ne Cranes ya CHAN) ng’ono yagatiddwako Livingstone Mbabazi, Fred Kajoba, Ayub Balyejusa ne Geofrey Massa.

Mubiru ye mumyuka owookubiri ng’addirirwa Mbabazi. Kajoba alondeddwa ng’omutendesi wa baggoolokipa, Balyejusa wa mijoozi ate Massa yalondeddwa nga maneja.

Cranes ezannya Burkina Faso ku bugenyi nga November 13 ne Malawi e Namboole nga November 17 mu mipiira egisooka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

sdfsdgsd

MINISITA w’ebyempuliziganya Judith Nabakooba asabye Bannayuganda okwewala enjawukana mu byobufuzi, ze yagambye...

Bamba 220x290

Ababadde bakukusa eddagala lya...

EKITONGOLE ekirondoola ebyobulamu okuva mu maka g’obwa Pulezidenti ekya Health Monitoring Unit, kikutte abasajja...

Kola 220x290

Ssemogerere ayingidde mu nkaayana...

EBIKONGE bya DP ebikulembeddwa eyali Pulezidenti, Dr. Paul Kawanga Semogerere ne bannaddiini abakulu mu ggwanga...

Unity 220x290

Bakutte agambibwa okukuba Imaam...

POLIISI ekutte omusajja agambibwa okukuba Imaam w’e Iwemba, Bugiri Sheikh Masuudi Mutumba amasasi agaamusse n’atwala...

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...