TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Kitara ne Kansai Plascon bali butoola mu Big League

Kitara ne Kansai Plascon bali butoola mu Big League

By Gerald Kikulwe

Added 31st October 2019

Omutendesi wa Kitara FC aweze okufiira ku Kansai Plascon asobole okufuna obubonero obunaamuyamba okwesogga 'Super'

Kitaraweb 703x422

Robert Ssentongo (ku kkono) owa Plascon, ng'alwanira omupiira ne DEvis Mugume owa Kitara sizoni ewedde (Ekif. Drake Ssentongo)

 

Lwakuna mu Big League

Bukedea – Katwe United, Bukedea

Doves All stars – Kiboga, Zombo

Light SS – Kataka, Amuria

Dove FC – Ndejje University, Katushabe

Kansai Plascon – Kitara, Luzira

Nyamityobora – New Villa, Kakyeka

Mark Twinamasiko, omutendesi wa Kitara FC, awera kuzzaayo Kitara mu play offs za Big League

Kitara, abaakamala sizoni nnya mu Big League nga bbiri ku zino bawandukira ku ‘Play offs’, bakyalira Kansai Plascon nayo eyawandukira ku ‘Play offs sizoni ewedde. Omupiira guli Luzira nga buli omu anoonya bubonero obunaamusobozesa okwesogga ‘Super’ sizoni ejja.

Twinamasiko agamba nti emipiira gy’oku bugenyi agiteekako nnyo essira kuba gye giba gisinga okukaluba, ate akimanyi nti kasita afunirayo obubonero kyongera okutangaaza emikisa gya ttiimu kuba awaka kiba kyangu.

“Plascon ze zimu ku ttiimu ez’amaanyi, era ssinga ngifunako obubonero 3 kiba kinkolera,” Twinamasik bwe yagambye.

Kitara y’ekulembedde ekibinja kya Rwenzori n’obubonero 7, mu mipiira 3.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sonso 220x290

Amagye gasse ababbi 4 omulundi...

Yabadde nga firimu eya “ssasi ku ssasi, nnyama ku nnyama,” amagye bwe gaabadde gakubagana n’ababbi e Mutundwe eggulo....

Capture 220x290

Freeman ayagala Butebi amuliyirire...

John Freeman Kiyimba awawaabidde mugagga munne Emmanuel Ssembuusi ‘Butebi’ mu kkooti ng’amuvunaana okumulebula....

Pogba23 220x290

Pogba bandimuta mu January

Abakungu ba ManU bandyevaamu ne batunda Pogba mu katale akatandika omwezi ogujja oluvannyuma lw’okuweebwa amagezi...

Skysportsancelottinapoli4862833 220x290

Napoli efuumudde Ancelotti

Nga bakyali mu ssanyu ly’okutimpula Genk eya Belgium ne batuuka ku luzannya lwa ttiimu 16 olwa Champions League,...

Olegunnarsolskjaer271019 220x290

Ole Gunnar Solskjaer aliisa buti...

Obuwanguzi obuddiring’ana ku Spurs (2-1) ne Man City (2-1) bucamudde abagagga ba ManU ne bakakasa omutendesi Ole...