TOP

Bawakanyizza ebivudde mu bululu

By Ester Naluswata

Added 31st October 2019

Abawagizi abamu beebuuza lwaki Man City ne ManU tezeesisinkanako ku 'quarter' ya League Cup.

Guard111 703x422

Guardiola n'ekikopo kya League Cup kye yawangula sizoni ewedde.

ABAMU KU bawagizi ba ttiimu z'e Bungereza, bawakanyizza ebyavudde mu bululu ku ngeri ttiimu zaayo gye zigenda okwezannya ku 'quarter' ya League Cup.

Obululu buno bukwatiddwa leero ku Lwokuna era ku ttiimu za Bungereza ezitwalibwa okuba ennene, tekuli zeesisinkanye. ManU akalulu kaagisidde ku Colchester ate Man City yakuzannya Oxford olwo Liverpool ekyalire Aston Villa.

Abamu ku bawagizi bagamba nti akalulu kano kandibanga nga kakwatibwamu, ttiimu ezo ennene zireme kwesisinkanamu ku mutendera guno. Obubaka bwabwe bakira babussa ku mikutu gya yintanenti egy'enjawulo okuli egya 'twitter' ne 'instagram' nga waliwo abagamba nti waakiri, bandisisinkanyizzaako Man City ne Liverpool oba waakiri ManU okusisinkana Man City.

Abalala ab'okuzannya 'quarter' ye Everton nga yaakuzannya Leicester.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono