TOP

Eya Uganda egenze mu za kwegezaamu

By Silvano Kibuuka

Added 2nd November 2019

Abakulira cricket bagamba nti Zimbabwe, nnungi mu cricket ng'okwegezaamu nayo, kyakubayamba okufuna obukodyo obulungi.

Team 703x422

Katende n'abazannyi abaagenze

Ttiimu y’eggwanga eya Cricket, esitula kiro kya leero ku Lwomukaaga, okugenda e Zimbabwe okwogezaamu ne ttiimu zaayo nga yeetegekera empaka ezigenda okubeera e Oman ku nkomerero y'omwezi guno.

Aba Uganda Cricket Association (UCA) bagamba nti  olw'omutindo omulungi, Zimbabwe gw’eriko ku lukalu lwa Afrika mu Cricket, baagadde ewe Cranes okwegezaamu okulungi nga yeetegekera empaka z’ekibinja kya ICC World Cricket Challenge League Group B ezinaabeera mu Oman nga November 30 – December 13.

Omumyuka wa ssabawandiisi wa National Council of Sports (NCS), David Katende ye yakwasizza ttiimu eno ey’abazannyi 16 bbendera okugenda mu kwetegeka kuno.

Ku Mmande, baakutandika okwegezaamu ne kiraabu ya Takasinga ate ku (Lwakubiri) bazannye O. Hararians ate ku Lwokutaano bazannye ttiimu y’eggwanga ya Zimbabwe ey’abali wansi w’emyaka 19.

“Eggwanga libataddemu obwesige kubanga mmwe mutunuuliddwa okubbulula ttiimu ya Uganda okuva mu kibinja ekyokusatu okudda mu kyokubiri omwaka ogujja mu mpaka ezinaabeera mu Oman,” Katende bwe yabuulidde abazannyo.

Ate ye kapiteeni omuggya, Brian Masaba eyasikidde Roger Mukasa yagenze awaga nti; "Nja kuduumira bulungi ttiimu kuba nakikolako mu ttiimu y’abato ey'abali wansi w’emyaka 19 mu 2017. Tumanyi ekigendererwa kya ttiimu,”.

Ttiimu essiddwaamu abazannyi bana abapya okwongera okuvuganya nga mu mpaka ze beetegekera mu Oman, baakutwalako 12.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Col2 220x290

Bebe Cool awadde abavubuka b'e...

Bebe Cool awadde abavubuka b'e Gomba obukadde 53 ez'okweggya mu bwavu

Set1 220x290

Rema yagambye nti buli mukazi yenna...

Rema yagambye nti buli mukazi yenna yetaaga kubeera n'omusajja gw'ayita omwami we ebyaddala

Ssematimba1 220x290

Peter Ssematimba atudde ebigezo...

Omubaka wa Busiro South Paasita Peter Sematimba atandise okukola ebigezo bye ebya S6 ku ssomero lya Minister JC...

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza