TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Eya Libya esubizza Proline obukadde 990 bwe ddu! Kyenkana akawumbi kalamba kagiyise mu ngalo

Eya Libya esubizza Proline obukadde 990 bwe ddu! Kyenkana akawumbi kalamba kagiyise mu ngalo

By Moses Kigongo

Added 3rd November 2019

Eya Libya esubizza Proline FC obukadde 990 bwe ddu! Kyenkana akawumbi kagiyise mu ngalo

Tuula1 703x422

Proline 0-2 Al Nasser (Libya)

Omugatte; (Al Nasser 4-2 Proline)

PROLINE FC ereese Bannayuganda emitaafu n’okufuluma ekisaawe ky’e Lugogo nga beesooza bw'ewanguddwa kiraabu ya Libya n’esubwa ne ssente obukadde 990 be ddu.

Al Nasser FC ye yannyogozza Proline bwe yagikubye ggoolo 2-0 ne yeesogga enzannya z’ebibinja bya ttiimu omunaana mu CAF Confederation Cup. Bano era baayiseemu doola 275,000 (eza Uganda obukadde 990), CAF ze yassaawo eri buli ttiimu egenda mu mpaka z’ebibinja.

Proline, eyazze eyagala amaliri agataweza ggoolo bbiri okuyitamu olw’ogwasooka ogwali e Misiri okuggwa ggoolo 2-2, embeera yagitabuseeko Khalid Almaryami bwe yakedde okugiteeba mu ddakiika eyookuna.

Okuva wano yalumbye obutasalako ng’aba ba Al Nasser bakuumye butiriribi Hamis ‘Diego’ Kiiza era ennumba nnyingi zaagudde butaka. Yakubye ku muti enfunda bbiri ng’abagenyi bwe beerwaza okutwaliriza obudde.

Omutendesi Matia Lule eyayimiridde omupiira gwonna, yaleese Allan Egaku ne Joshau

Okiror kyokka nga Proline enyigiriza, ate Ibrahim Osama yasindise ennyanda okuva mu yaadi nga 40 n’enywa ekisaawe ne kisiriikirira.

Eggulo, KCCA yattunse ne Paradou mu Algeria. Baalemagana 0-0 e Lugogo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Col2 220x290

Bebe Cool awadde abavubuka b'e...

Bebe Cool awadde abavubuka b'e Gomba obukadde 53 ez'okweggya mu bwavu

Set1 220x290

Rema yagambye nti buli mukazi yenna...

Rema yagambye nti buli mukazi yenna yetaaga kubeera n'omusajja gw'ayita omwami we ebyaddala

Ssematimba1 220x290

Peter Ssematimba atudde ebigezo...

Omubaka wa Busiro South Paasita Peter Sematimba atandise okukola ebigezo bye ebya S6 ku ssomero lya Minister JC...

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza