TOP
  • Home
  • Rally
  • Musaayimuto yeeweredde banne mu ddigi

Musaayimuto yeeweredde banne mu ddigi

By Ismail Mulangwa

Added 4th November 2019

Okuwa ngula engule y'omwaka guno, Ashraf Mbabazi alina okuwangula wakiri enkontana 2 mu mpaka za laawundi eyoomusanvu e Garuga.

Mbabazi2 703x422

Mbabazi ng'abusizza ddigi.

MUSAAYIMUTO Ashraf Mbabazi alaalise banne bwe baavuganya ku ngule y’omwaka mu ddigi nga bw’atagenda kuddiriza muliro mu mpaka ezigalawo kalenda ya ddigi eza ‘Mountain Dew Motorcross Championship’ laawundi eyoomusanvu.

Mbabazi, avugira mu mutendera ogw’abato (MX50cc Junior) omuli; Jonathan Katende, Liam Ntale, Talha Kateete, Larry Isaiah Sekamwa ne Sydney Ethan Kayizzi.

 amusaayimuto nga balwana okuyisa ddigi mu bisooto Bamusaayimuto nga balwana okuyisa ddigi mu bisooto.

 

Mbabazi alina obubonero 321 ng’amudiridde Jonathan Katende alina 285 ne Liam Ntale (275) mu kyokusatu. Bano (Katende ne Ntale) okuwangula, beetaaga okumegga Mbabazi mu mpaka za laawundi eyoomusanvu.

 babazi Mbabazi.

 

“Sigenda kukola nsobi yonna kusuula bubonero kuba omwaka guno njagala kuwangula ngule era abandi ku bbampa mbasekeredde kuba sigenda kubawa kanya kampangula. Mbasinga obubonero butono (36) era ngenda kukola ekisoboka mbamegge mu nkontana wakiri bbiri nsobole okuwangula,” Mbabazi bwe yagambye.

Empaka zaakutojjera e Garuga nga November 24.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.

Tege 220x290

Kyokka mwana ggwe Lydia Jazmine!...

MWANAMUWALA Lydia Jazmine abamu gwe bayita muninkini wa gundi yamalayo. Akola bimusanyusa nga tafuddeyo ku bantu...

Kuba 220x290

Eyagaba abalongo bange yantamya...

NZE Charles Adwor, mbeera Mukono. Nasisinkana munnange mu 2014 nga nkyabeera e Jinja. Ebiseera ebyo nalina omulimu...

Melon1 220x290

Weyune enkola ya kontulakiti ofunemu...

OKUKOLA kontulakiti n’omuguzi y’emu ku ngeri omulimi n’omulunzi mw’asobola okuyita okufuna akatale k’ebintu bye...

Remagrad2 220x290

Rema alangiridde bw’addayo ku yunivasite...

REMA Namakula alangiridde nga bw’agenda okuddayo ku yunivasite e Kyambogo amalirize diguli ye omwaka guno oluvannyuma...