TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Vipers erinze kudda Wakiso Giants mu biwundu

Vipers erinze kudda Wakiso Giants mu biwundu

By Ismail Mulangwa

Added 4th November 2019

Wakiso Giants yaakakubwa emipiira 6 sizoni eno ng'enkya yeetaaga buwanguzi eweze wiini 5 okuva mu mipiira 12.

Vipers2222 703x422

Abazannyi ba Vipers nga bajaganya.

Vipers - Wakiso Giants, St Mary's Stadium 10:00

Police FC - URA FC, FUFA Technical Njeru 10:30

Kyetume FC - Busoga United FC, Bombo Barracks Ground 10:30

Onduparaka FC - BUL FC, Green Light Stadium 10:30

Express FC - Maroons FC, FUFA Technical Njeru 7:00

BATABANI ba Edward Golala aba Vipers FC bakomawo mu nsiike nga battunka ne Wakiso Giants ekyanyiga ebiwundu oluvannyuma lw'okukubwa Express (3-0) ekyawalirizza n'okugobya omutendesi Kefa Kisaala.

Mu kaseera kano ttiimu etendekebwa eyaliko ssita wa SC Villa, Steven Bengo ng’era guno gwe mupiira gwe gw’agenda okusooka okubeera mitambo. Attunka ne Vipers eri ku ffoomu.

Bukya sizoni eno etandika Vipers tennakubwamu mupiira gwonna okujjako okukola amaliri (3) n'okuwangula emirundi munaana. Kyokka Wakiso ku mipiira 11, yaakakubwamu emirundi (6), wiini (4) n’amaliri ga mulundi gumu. Bakwata kyakumi n'obubonero 13.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Col2 220x290

Bebe Cool awadde abavubuka b'e...

Bebe Cool awadde abavubuka b'e Gomba obukadde 53 ez'okweggya mu bwavu

Set1 220x290

Rema yagambye nti buli mukazi yenna...

Rema yagambye nti buli mukazi yenna yetaaga kubeera n'omusajja gw'ayita omwami we ebyaddala

Ssematimba1 220x290

Peter Ssematimba atudde ebigezo...

Omubaka wa Busiro South Paasita Peter Sematimba atandise okukola ebigezo bye ebya S6 ku ssomero lya Minister JC...

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza